
Bya Miiro Shafik
Buziga – Kyaddondo
Nnaabagereka Sylvia Nagginda mu butongole agguddewo ‘Ekisaakaate International Schools’ ekiyindira ku ssomero li Kabojja International Schools erisangibwa e Buziga.
Nnaabagereka Nagginda bw’atuuse ku ssomero lino ewakubiddwa enkambi y’Abasaakaate bano, asoose okulambuzibwa ebifo eby’enjawulo okuli; ebisulo n’ebibiina by’abayizi, ate oluvannyuma asisinkanye Abasaakaate ne bamulaga ebyo bye basomye okuva Ekisaakaate kino lwe kyatandika nga 3 Kasambula. Bano abasabye okussa mu nkola byonna ebibasomesebwa naddala okukozesa obulungi emitimbagano n’okwewala ebiragalalagala.
Nnaabagereka asinzidde eno era n’akubiriza abazadde okuyigiriza abaana baabwe ennimi ezaaliranwa kibayambe okumanya n’okunyweza obuwangwa n’ennono zaabwe nga bakyali bato. Yebazizza obukulembeze bwa Kabojja International olw’okukyaza Ekisaakaate ky’omwaka guno eky’abaana abasomera mu masomero agali ku nsoma y’omutendera gw’Ensi yonna.
“Kikulu nnyo abaana okumanya ennimi zaabwe, kirungi bayige ennimi ezisukka mu lumu, newankubadde bayiga oluzungu, kyokka kirungi abazadde okubalungamya okuyiga ennimi endala naddala ezaabwe enzaaliranwa” Nnaabagereka.

Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu era Avunanyizibwa ku woofiisi ya Nnaabagereka agamba nti enteekateeka eno ey’Ekisaakaate emaze emyaka 18 eyambye nnyo okugunjula abaana b’Eggwanga mu mpisa ne mu kubawa obusobozi okubaako bye basobola okwekolera eby’emikono n’ebyomutwe.
Omutandisi w’essomero lino era Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Hajji Ahmed Lwasa naye alaze essanyu olw’omukisa gwe baweebwa okukyaza ekisaakaate ky’agambye nti enteekateeka nnungi nnyo eyamba mu kuteekateeka abaana b’Eggwanga era akunze abantu buli lwe bawulira enteekateeka y’Ekisaakaate okugijjumbira esobole okuganyula abaana baabwe.
Ye Omuk. Fred Kabuye Kalungi okuva National Drug Anthority ekimu ku bitongole ebiwadde abaana emisomo naddala ku biragalalagala, yebazizza Nnaabagereka olw’enteekateeka eno eyitibwamu okulaba nti abaana b’Eggwanga babangulwa mu bintu eby’enjawulo naddala ebyo bye batafuna mukisa kusomosebwa mu bibiina.
Mu kisaakaate, abaana bagunjulwa mu bintu eby’enjawulo omuli empisa ez’obuntubulamu, okukolagana ne bannaabwe, enneyisa mu bantu, ebyemikono nga okukola kkeeki, emigaati, okuluka ebintu eby’enjawulo nga ebibbo, ebitambala n’ebirala, emizannyo nga okuwuga, omupiira ogw’ebigere n’okubaka n’emizannnyo emirala.
Ekisaakaate kino ekyatandika ku Lwokuna nga 3 Kasambula kya kukomekkerezebwa ku Lwomukaaga lwa sabiiti eno nga 12.