Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Nnaabagereka Sylvia Nagginda atongozza enteekateeka y’obunyisa enjiri y’Obuntubulamu n’okubusiga mu bantu okwetoloola Uganda ku mukolo oguyindidde ku Sheraton Hotel mu Kampala. Nnaabagereka ategeezeza nti enteekateeka eno egendereddwamu okutumbula empisa mu bavubuka n’abantu bonna awatali kusosola mu mawanga era egenda kutambuzibwa mu ggwanga lyonna, bwatyo nakubiriza abantu bonna okugijjumbira.

Nnaabagereka agamba okukyusa ensi eno, ensingo y’obuntubulamu esaana okusigibwa mu bantu nga bakyali mu myaka emito era essira agenda kulisimba mu baana abato n’abavubuka okusobola okuzimba ensi eggumidde. Kisaana kijjukirwe nti buli lukedde Nnaabagereka buli lukede akalaatira abantu okuteeka embala y’obuntubulamu mu baana baabwe nga babasigamu Obwerufu, Obwetowaze, Obuyonjo, Amazima, Obuvunaanyizibwa, Okwewaayo n’ennyingo z’obuntu bulamu endala.

Omukolo gwetabiddwako Abaami ba Ssaabasajja, abakulembeze okuva mu gavumenti eyawakati n’abakungu abalala bangi









