Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole ki Nnaabagereka Development Foundation (NDF) butegekedde bannayuganda abawangaalira ebweru ekisaakaate okwongera okubangula abaana ku nnono n’obuwangwa bwabwe mu nteekateeka y’okubanyikizaamu obuntubulamu.
Kino kibikuddwa Minisita w’enkulaakulana y’abantu awamu ne woofiisi ya Maama Nnaabagereka, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku Lwokubiri e Bulange Mmengo mu Kampala.
Owek. Nankindu agambye nti Ekisaakaate kino kigenda kuyindira Boston mu Amerika okuva nga 8/08/2022 okutuuka nga 13/08/2022, wansi w’omulamwa ogugamba nti, ‘Obuntubulamu mu bikolwa byo’ era Nnaabagereka Sylvia Nagginda yagenda okubeera omubanguzi omukulu.
Okusinziira ku Minisita Nankindu, baagala okutumbula obuntubulamu mu bantu nga babazaamu ensonyi, empisa, amazima, okufa ku balala, Bulungibwansi, okweyimirizaawo, obuvunanyizibwa, obwerufu, obwesimbu, obukulembeze obulungi n’ebirala n’asaba abazadde okubakwasa abaana babagunjule.
Owek. Nankindu annyonnyodde nti abaana abaneetaba mu Kisaakaate kino bagenda kufuna omukisa okwenyigiramu obutereevu mu bikolebwa kuba bagenda kuba balabwe bwebayiga era bakole okukakasa byebayize.
Enteekateeka eno egenda kuyindira mukifo eky’ekkanisa ekimanyiddwa nga Dominion Assemblies International Ministries esangibwa ku Singing Hills Christian Camp esangibwa ku 71 King Drive, Plainfield NH03781 mu Amerika nasaba abazadde okwanguwa bawandiise abaana.
Kinajjukirwa nti Ekisaakate kino kyatandikibwa mu 2007 era nga abaana abamanyiddwa nga Bannaliyo abali eyo 35,000 era nga kiwagira ekitongole ki Nnaabagereka Development Foundation awamu n’Obwakabaka bwa Buganda.