Bya Francis Ndugwa
Kampala
Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abakulu mu gavumenti eyaawakati ne Africa, okulwanyisa ebikolwa ebisaanyaawo obutonde bw’ensi obwonoonese ennyo.
Okusaba kuno Nnaabagereka yakukoledde Munyonyo olunaku lw’eggulo mu kujjukira Ssabbiiti y’amazzi n’obutonde bw’ensi. Nnaabagereka eyasoose okulambula eryato eryazimbiddwa mu Pulaasitiiki e Munyonyo.
“Obucupa ne Pulaasitiika ebibembedde ku migga n’emyala gyaffe, kiraga nti tewali nteekateeka ku ngeri gye tweggyako Pulaasitiika oyo gwe tubeera tumaze okukozesa.” Maama Nnaabagereka bwe yagambye.
Ono era yategeezezza abeetabye mu lukung’aana luno ku ngeri ez’enjawulo gye basobola okulwaniriramu obutonde era n’asaba wabeewo amateeka amakakali agafuga Pulaasitiiki naddala mu East Africa.
Maama Nnaabagereka yakuutidde abazadde mu maka gaabwe okuyigiriza abaana n’okubasomesa ku ngeri gye basobola okukung’aanyamu Pulaasitiiki ono ate ne bamufuula ow’omugaso.
Nnaabagereka yakubirizza abakulembeze n’abazadde okuddayo mu nkola ez’ennono eziyamba okukuuma obutonde bw’ensi nga Bulungibwansi mu Buganda kiyambe kukusaanyaawo obutonde bw’ensi.
Minisita omubeezi ow’obutonde bw’ensi, Betrice Atim Anywar, yategeezezza nti waakulaba nga mMinisitule ye ebeera nsaale mu kukugira okusaanyaawo obutonde bw’ensi nga bw’azze akola.
“Tulina okukyusa endowooza zaffe tuve mu kumala gagisuulayo naye tulina okufaayo okugirabirira, buli omu ku ffe yeetaaga okusimbayo omuti bwe tuba twagala ebiseera byaffe eby’omu maaso bibeere bitangavu.” Minisita Anywar bwe yannyonnyodde.
Minisita Anywar yasiimye Nnaabagereka olw’okuvaayo okulwanirira obutonde bw’ensi wamu n’omwana omuwala mu ggwanga Uganda.
Mu nsisinkano eno abakugu ab’enjawulo baakubaganyizza ebirowoozo ku ngeri ez’enjawulo amawanga gye gayinza okuyamba ku kizibu ky’okusaanyaawo obutonde bw’ensi.