Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abazadde wonna mu ggwanga okuyambako abaana babwe okutuukiriza ebirooto byabwe kibayambe okufuuka abantu abalimu ensa era abasobola okulaakulanya eggwanga.
Obubaka buno Nnaabagereka Nagginda abuweeredde ku mukolo gw’okutongoza Ekisaakaate Gatonnya 2023, nga bumusomeddwa Minisita avunaanyizibwa ku woofiisi ya Nnaabagereka Dr. Prosperous Nankindu Kavuma mu bimuli bya Bulange ku Lwokusatu.
Nnaabagereka agamba nti singa abazadde bavaayo nebakwasiza ku baana babwe kijja kubeera kyangu okutuukiriza ebirooto byabwe.
Ono annyonnyoddde nti omulundi guno essira balitadde ku kuzuula obusobozi bw’abaana n’ettofaali lyebasobola okuteeka ku ggwanga mu ngeri y’okulikulaakulanya.
Okusinziira ku Minisita Nankindu Ekisaakaate ky’omwaka 2023 kigenda kuyindira ku ssomero lya Muzza High School erisangibwa e Kabembe – Mukono mu ssaza Kyaggwe.
Ssenkulu wa wekitongole ki Nnaabagereka Development Foundation, Omuk. Andrew Adrian Mukiibi, annyonyodde nti ebimu ku biruubirirwa byabwe ku mulundi guno kwekubudaabudda abaana abalabika nga bakosebwa omugalo ate nokuvumbula ebitone byebalina.
Ku mulundi guno Ekisaakaate kya kutambulira wansi w’omulamwa gwo ‘ Okuttukiza obusobozi obukusike ku lw’ okwekulaakulanya.’nga kyakuva nga 05 – 21 Gatonnya (January) 2023.
Akulira eby’enkulaakulana ya Bizineensi mu bbanka ya Finance Trust Bank, Paul Lubega Pacy yeebazizza Nnaabagereka olw’okukkiriza babeere abamu ku bavujirizi b’ Ekisaakaate ky’omwaka guno.