Bya Ssemakula John
Amerika
Nnaabagereka Sylvia Nagginda abangudde abasaakaate mu kibuga kya New Hampshire mu ssaza lye Massachusetts mu Amerika nga enteekateeka eno eya Ekisakaate Diaspora eyindidde mu kkanisa ya Singing Hills Christian Camp.
Mu nteekateeka eno Abasaakaate basengekeddwa mu mitendera ena (4), era gino gyabuddwa mu mannya g’ebizimbe ebikulu mu bwa Kabaka okuli Twekobe, Bulange, Butikkiro ne Masengere.
Ku lunaku olwasoose, abaana baasomeseddwa emisomo ebiri okwabadde; Okusalawo okw’omugaso mu bulamu bw’omuntu (Decision Making), ate n’okuyiga okulanya awamu n’ebyafaayo ebikwata ku Buganda , ennono awamu n’obuwangwa.
Ekisaakaate Diaspora eky’omwaka guno kyetabiddwamu abaana 93, era nga kijja kuggalwawo Maama Nnaabagereka ku Lwokutano lwa wiiki eno nga 12 Muwakanya, 2022.
Omukolo gwetabiddwako Omumbejja Katrina Ssangalyambogo, Omwami wa Kabaka atwala ekitundu kino Oweek. Kato Kajubi awamu n’abalala.
Abakuliddemu enteekateeka eno nga bakuliddwa omusumba Henry Ssuuna beebazizza Nnaabagereka olw’omukisa guno.