Bya Nabaggala Nadiah
Mmengo – Kyaddondo

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu Uganda, ki NIRA (National Identification and Registration Authority), kisembeza obuweereza bwakyo mu Bwakabaka bwa Buganda.
Mu nteekateeka ekitongole kino gye kiriko ey’okuzza obuggya endagamuntu ezaggwako n’okuddamu okuwa abo ababulwako ezaabwe, abakulira ekitongole basazeewo okutuusa obuweereza mu bifo ebirimu abantu abantu abakolera awamu okubasobozesa okwenyigira mu nteekateeka eno ate nga tebavudde ku mirimu gyabwe.
Abaweereza b’Obwakabaka n’abakozi ba Kabaka mu bitongole eby’enjawulo mu mbeera eno mwe baweereddwa omukisa okuwandiisibwa obuggya n’okuyisibwa mu mitendera gyonna egyetaagisa okulaba nti bazza buggya endagamuntu zaabwe.

Minisita Israel Kazibwe Kitooke ng’ono ye w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka y’aguddewo enteekateeka eno ategekeddwa mu luggya lwa Bulange era ono asanyukidde enkola y’ekitongole ki NIRA ey’okufaayo okulaba nti emirimu gy’abantu tegiyimirira wabula ate ne babasobozesa okwenyigira mu nteekateeka zonna ate ku bwerere.
“Tukubiriza abantu baffe naddala mu kiseera kino ng’okulonda kusembedde bajjumbire enteekateeka eno ey’okuzza obuggya endagamuntu baleme kutaataganyizibwa mu mbeera yonna” Minisita Kazibwe

Ye Steven Robert Kasumba akulira okulondoola n’okwekenenya ebikolebwa mu NIRA akubirizza abantu okulonkoma abo bonna ababagyako ssente mu nteekateeka eno ng’akikaatiriza nti buli kya bwerere era okugulirira okw’engeri yonna tekusuububirwa.
“Twebaza Obwakabaka bwa Buganda okuba nti butwegasseeko mu kaweefube gwe tuliko ow’okuzza obuggya endagamuntu, tusuubira abantu ba Buganda okwongera okujjumbira enteekateeka eno” Robert Kasumba omukungu okuva mu NIRA.

Enteekateeka eno esembezeddwa mu Bulange eganyudde abantu ab’enjawulo okuli; Omulangira David Kintu Wasajja, Baminisita ba Kabaka, Bassenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka abaweereza mu Bwakabaka n’abakozi mu bitongole by’Obwakabaka eby’enjawulo okuli; BBS, CBS, Kabaka Foundation, Nkuluze, Buganda Land Board n’ebirala.