Bya Ssemakula John
Akwatidde ekibiina kya Alliance for National Transformation bbendera ku bwapulezidenti, Gen. Mugisha Muntu, ategeezezza nga bw’agenda okulagira amagye okuva ku nnyanja singa anaalondebwa ku bwapulezidenti.
Muntu yagambye nti ekya gavumenti ya Pulezidenti Museveni okulemeza amagye ku nnyanja wakati nga bannayuganda bakaaba kiraga nti takyafaayo ku bulamu bwabwe.
“Toyinza kutwala amagye agaatendekebwa okubeera mu ntalo ate ggwe n’obatwala okukuuma ennyanja era ndowooza mulabe eryanyi lye bakozesa nga bakuuma ennyanja.” Muntu bwe yategeezezza ab’e Serere bwe yabadde anoonya akalulu olunaku lw’ eggulo.
Gen. Muntu yalumirizza gavumenti ya Museveni okulemwa okusalira ebizibu bya bannansi amagezi era nga kati buli lwe wabaawo okusoomooza bayita magye okusobola okugonjoola ensonga ekintu ekitali kirungi.
Ono yeeyamye okukola ku kizibu kye kibbattaka ekiri kumpi mu buli kitundu kya ggwanga era afube okulaba nga bannansi bafuna obwenkanya.
Kinajjukirwa nti gavumenti yayimbula abajaasi b’eggye lya UPDF okukuuma n’okulawuma ennyanja era nga wakati mu kukola omulimu guno waliwo bannansi abaafuna ebisago, ebintu ebiwerako byawambibwa, obutimba n’amaato byayokebwa abamu ku batuuze kye balumiriza nti abajaasi baakozesa obukambwe obuyitiridde nga balawuna ennyanja zino.
Muntu yasuubizza okukola ku kizibu ky’enguzi ekidobonkanyizza enkulaakulana ne pulojekiti za gavumenti era n’alabula nti bw’anaawangula akalulu talina muntu yenna gw’ajja kuttira ku liiso singa anaasangibwa ng’alidde enguzi.