Bya Miiro Shafik
Emizannyo gy’Ebika mu mupiira ogw’ebigere gigenze ku mutendera gwa luzannya oluddirira olw’akamalirizo oluvannyuma lw’emipiira egibadde egy’akaasameeme mu kisaawe e Wankulukuku ne WAKISSHA
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga akoowodde Obuganda okujjumbira ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka eky’abazzukulu okuwagira Ebika byabwe. Asinzidde mu kisaawe e Wankulukuku gy’alabidde omupiira wakati wa Mmamba Kakoboza ne Nseenene.
Minisita Serwanga yebazizza Ebika byonna ebyetabye mu mizannyo gy’Ebika omwaka guno, era agamba nti ebbugumu lyeyongedde kati naddala nga n’oluzannya olw’akamalirizo mu mupiira ogw’ebigere lusembedde.

Minisita Serwanga yebazizza abawagizi abajjumbidde okulaba emizannyo gy’Ebika era akowoodde abazukkulu okwongera okuwagira Ebika naabo abavuddemu ate okubaako Ebika bye beekwatako babiwagire okutuusa nga omuwanguzi afunise nga 07/06/2025.
Emizannyo 4 gye gibaddewo olunaku lwa leero era giwedde bwegiti;Ngabi Nsamba 4-1 Ngabi NnyungaKkobe 4-2 NgoOmutima Omusagi 0-2 Ndiga Mmamba Kakoboza 1-2 Nseenene
Oluvannyuma lw’ezannya zino, ttiimu z’Ebika bina (4) ze ziyiseewo okwesogga oluzannya oluddirira olw’akamalirizo okuli Ngabi Nsamba, Kkobe, Ndiga ne Nseenene.
Bazzukulu ba Nsamba tosobola kubabuusa maaso kweddiza Ngabo ya mwaka guno kubanga emipiira gyonna gye basambye omwaka guno bakoledde ddala bulungi.
