Bya Ssemakula John
Kampala
Nnannyini masomero ga Sir Apollo Kaggwa Primary Hajji Ssewava Musa avudde mu bulamu bw’ensi. Hajji Ssewava Musa afiridde mu ddwaliro Lya IHK e Namuwongo ku saawa nga musanvu ez’ekiro.
Akulira essomero lya Sir Apollo e Mengo, Musoke Geoffrey ne muganda w’omugenzi ategerekeseeko erya Deborah bategezezza nti Hajji Ssewava yakubiddwa ekirwadde kya Stroke ng’avuga mmotoka ye akawungeezi kajjo, n’addusibwa mu ddwaliro mu ddwaliro lya IHK gy’afiiridde.
Okusinzira ku booluganda Hajji Ssewava Musa wakuziikibwa olwaleero e Buloba ku luguudo lw’e Mityana ku saawa kumi ez’olweggulo.
Baakusooka kumusaalira ku Masjid Fauz Bukesa ku ssaawa mukaga ez’emisana.
Amasomero ga Sir Apollo Kaggwa galina amatabi e Mengo, Sir Appolo Kaggwa Old Kampala, Sir Appolo Kaggwa Nakasero, Hilltop primary School Kawempe, Kyengera n’amalala.