Musasi waffe
Nga Uganda yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abakyala, olubaawo nga March 8, pulezidenti Yoweri Museveni yasiimye n’agabira abakyala 84 emidaali.
Bano baasiimiddwa olw’emirimu egy’enjawulo gy’abakoze mu kununula eggwanga lyabwe wamu n’okulikulaakulanya.
Mu bano mwemwebadde ne Nnaalinya Dorothy Namukaabya Nassolo muwala wa Ssekabaka Sir Edward Muteesa II.
Ono yasiimiddwa olw’emirimu egy’enjawulo gyeyakola okuweereza Uganda.
Nassolo yakolako mu minisitule evunanyizibwa ku by’obusuubuzi, era yaweereezaako ku kitebe kya Uganda mu America.
Oluvanyuma, yeegatta ku minisitule y’eby’obulamu nga eno gyeyakola ppaka bweyawummula.
Omudaali ogwamuweereddwa gwakwassibbwa mutabani we Omulangira, Daudi Chwa.