
Bya Musasi Waffe
Kampala
Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP) era eyavuganya ku kkaadi yaakyo ku bwapulezidenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine agamba nti yali mwetegefu okuwagira omuntu omulala yenna eyali akkiriziganyiziddwako oludda oluvuganya mu kalulu ka 2021 okusobola okuwangula Pulezidenti Museveni.
Mu bubaka bwe Bobi Wine agamba nti ye n’ekibiina kye baali baagala okwegattira awamu n’ebibiina naye ate ebimu ku bino byali si byetegefu kwegattira wamu.
“Okumala emyaka 2 nga tetunnalonda, twatuula mu nkiiko ezisoba 50 n’abakulira ebibiina eby’enjawulo ku ludda oluvuganya. Twali tulowooza nti tusobola okuwangula Pulezidenti Museveni nga tugasse amaanyi wonna mu ggwanga era kituyambe okukuuma akalulu. Nali mwetegefu okuwagira omulala ne bw’atandibadde nze singa yali yalondeddwa mu bwesimbu era mu mazima.” Bobi Wine bw’annyonnyodde.
Kyagulanyi agamba nti oluvannyuma lw’okuwangula akalulu k’e Kyaddondo East mu 2017, yatandika okusisinkana abakulembeze b’ebibiina eby’enjawulo, bannakyewa ne bannaddiini okubasikkiriza okuwagira enteekateeka y’okwegattira awamu.
“Bwe twatandika ekisinde kya People Power Movement, twagatta bannayuganda bonna omwali ne bannabyabufuzi okusobola okutondawo Uganda empya naye abamu ku bannaffe tebaali beesimbu ate abalala nga tebanywerera ku nsonga.” Bobi Wine bwe yagasseeko.
Bobi Wine agamba nti abamu ku bannaabwe ku ludda oluvuganya baali bakulembeza bigendererwa byabwe ng’abantu okusinga eby’eggwanga wadde ebimu ku bino tebabiteeka mu lujjudde kuba singa babiteeka mu lujjudde kijja kwongera okuteekawo olukonko mu bibiina ebiri ku ludda oluvuganya.
“Nga tetunnateekawo National Unity Platform, abamu ku bakulembeze baali batugamba nti balina kusooka kwebuuza ku bibiina byabwe. Abalala baategeeza nti baalina kusooka kulonda bagenda kubakwatira bbendera ate abalala nti baali tebasobola kukolagana naffe kuba tetuli bibiina byabufuzi.” Kyagulanyi bw’annyonnyodde.
Bobi Wine ategeezezza nti baakizuula oluvannyuma nti abamu ku bannaabwe baali tebaagala kwegatta kuno naye baakozesanga enkiiko zino okubamalira obudde n’okugezaako okubaggya ku mulamwa.
Wabula Kyagulanyi agamba nti ekiwa essuubi kwe kuba nti bakyalina bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya abaagala okulaba ng’eggwanga likyuka.









