
Bya Shafik Miiro
Lubaga – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okugenda mu bufumbo mu myaka egy’obuvubuka kubanga kiyambako okwekulaakulanya n’okweteekateeka obulungi.
Bino abitadde mu bubaka bw’atisse Oweek. Noah Kiyimba amukiikiridde ku mbaga ya muwala wa Hon. Matia Lwanga Bwanika Ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso; Jane Diana Namayanja agatiddwa ne Patrick Mawanda abagattiddwa mu bufumbo obutukuvu mu lutikko e Namirembe. Yeebaziza ababiri bano olw’okusalawo okubeeragana obulamu bwabwe bwonna ne yeebaza ne bazadde baabwe ababateeseteese obulungi.

Mayiga alabudde abantu okwewala okutambuliza obufumbo bwabwe ku mitimbagano gy’agambye nti giriko ebirowoozo bingi ebitali bituufu ku bufumbo, bwatyo n’abakuutira obutagendera kw’ebyo abantu bye boogera ku bufumbo n’obutageraageranya bufumbo bwabwe ku obwo bwe balaba ku mitimbagano, era asabye abafumbo okubeera n’empuliziganya ennungi wakati waabwe okwewala okuteekawo emiwatwa egiyinza okuvaamu obuteesigaŋŋana.
Minisita wa Kabineeti, Olukiiko, Abagenyi n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Oweek. Kiyimba ku lulwe asabye Patrick ne Diana olubeerera okukuuma omukwano gwe batandise nagwo olugendo lw’obufumbo bwabwe kibayambe okuwangaala bonna n’okukuumagana.

Bishop Jackson Matovu mu kubuulira kwe, yeebaziza ababiri bano olw’okusalawo okutukuza obufumbo awatali kwekwasa njawulo gye balina mu nzikiriza, era abasabye buli omu awe munne eddembe okukola ebyo ebiri mu nzikiriza ye, kyokka ne lwe basobodde okutambula bombi bakikole, buli omu awerekereko munne naddala mu bibiina ebisoomooza abafumbo mu masinzizo
Abakubirizza buli omu okubeera omulungi eri munne, okubeera n’ekisa, obugumiikiriza ate n’okuteesanga olwo bakukkanye ku bye bakola nga bali mu bufumbo, kibayambe okubuwangaaza. Abaagaliza ekisa n’emikisa gya Katonda mu lugendo lwe boolekedde.
Patrick mukulisitaayo ate Diana mukatoliki, era oluvudde e Namirembe ne boolekera e Lubaga mu mmisa ey’okusembera n’oluvannyuma bakyaziza abagenyi baabwe ku Las Berlina Hotel e Bulenga










