
Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo atikudde oluwalo lwa nsimbi ezisobye mu bukadde 24 okuva mu Bannabuddu ne Bannabusia abakiise Embuga mu Bulange e Mengo.
Owek. Kaawaase asinzidde wano n’akubiriza Obuganda okwefumiitiriza ennyo ku bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obwa Eid Adhuha, naddala ennyingo esatu (3) ze yataddeko essira okuli; abantu obutakoowa kusabira Bwakabaka, Katonda asobole okubuyisa mu mbeera ezinyigiriza, abantu obutasirika ku kunyigirizibwa kwonna okuliwo kyokka beewale n’obutayogera nga tebamaze kwefumiitiriza.
“Obwakabaka bwagala mirembe era bujja kukolagana n’oyo ayagaliza Obwakabaka ne Uganda emirembe” Kabaka Mutebi II.

Owek. Kaawaase asinzidde wano ne yeebaza Abaami olw’okukumaakuma abantu ba Kabaka ne beenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka naddala ey’oluwalo n’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egyakakomekkerezebwa.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki akubirizza abantu ba Buganda okussa ekitiibwa mu nsonga y’ebiseera, buli kye bakola kibeere mu budde obutuufu, era ategeezezza nti ensigo eno esaana kuteekebwa mu baana okuviira ddala nga bato. Akubirizza n’Abaami ba Kabaka okunyikiza enteekateeka z’Obwakabaka mu bantu nga babatuusaako amawulire gonna agafa Embuga.
Omumyuka Owookubiri owa Pookino Omw. Muwanga Dick nga yakulembeddemu abakiise Embuga, yebazizza abantu ba Kabaka olw’okujjumbira okuwaayo oluwalo, era yeyamye nti baakwongera okukubiriza Bannabuddu n’abantu ba Kabaka bonna ku nkola ya ‘Tondeka mu luwalo’ bongere okwetabamu. Ono era yebazizza Gavumenti ya Kabaka olw’enteekateeka zonna ezikolebwa naddala mu kunyikiza eddoboozi lya Kabaka mu bantu ku nsonga nga okulima emmwanyi, okulwanyisa mukenenya n’endala.
Omubaka Joseph Gonzanga Ssewungu ng’ono mubaka e Kalungu era omu ku bakiise Embuga asiimye emirimu egikolebwa Gavumenti ya Beene era n’alaga essanyu olw’enteekateeka y’amasomero ga nnasale agatandikiddwawo Obwakabaka. Agamba ajja kutuusa eddoobozi okulaba nga Obwakabaka buwagirwa mu nsonga z’Ebyenjigiriza.
Ggombolola 3 okuva mu Buddu ze zikiise Embuga; Mut. V Kakuuto, Mut. X Kyamuliibwa, Mut. XVI Lwankoni bano be begatiddwako abantu ba Beene okuva mu ssaza ly’e Busia.
