Bya Maria Gorreth Namisagga
Katikkiro asekeredde ababadde boogerera omulimu gw’okuzzaawo amasiro nti gutambudde mpola.
Bw’abadde alangirira okumalirizibwa kw’Amasiro, Katikkiro Mayiga ategeezezza nti newankubadde tewali lunaku na lumu omulimu gw’okuzzaawo amasiro lwe gwali guyimiridde, olwa awatali nsonga, wabaddewo aboogera nti omulimu guluddewo nti sinnakindi ssente ezigatereeza zaabula.

Amasiro bwe gaakwata omuliro ng’ennaku z’omwezi 16/03/ 2010, kyatwala ebbanga lya myaka ena (4), amasiro gano okutandika okuddaabirizibwa. Gigenze okuwera emyaka 11, ng’omulimo guno guggyibwako ngalo.

“Muzibu-Azaala-Mpanga ssi nsiisira nnene wabula Masiro agaliko ennono n’Obuwangwa bye tubadde tuteekwa okugoberera mu kugazzaawo, gatutte obudde okumalirizibwa naye nga tufuba okugoberera buli mutendera ogw’etaagisa n’ennono ezeetoolera ku mulimu guno wakati mu kunonya ensimbi ezisobye mu bukadde 13 okuggusa omulimu guno” Katikkiro Mayiga.
Bw’atuuse mu masiro Katikkiro asoose kulambuzibwa nnyumba eno wamu n’ebifo eby’enkizo ebirala, era bw’abadde awa amawulire g’okumalirizibwa kw’ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga asekeredde abo ababadde boogera bino na biri, nga bagamba nti omulimu gw’okuzzaawo amasiro gutambudde mpola nga tebalina na kumanya kutuufu nti omulimu guno teguyimirirangako yadde.
Katikkiro agambye nti, “Omulimu guno okutambula nga bwe gutambudde, guyise mu mitendera mingi, waaliwo obuzibu mu kunonya ensimbi, ate nga n’Obwakabaka bugazi nnyo, kale nga n’emirimu emirala girina okusigala nga gitambula, tewaaliwo lunaku na lumu lwe tuyimirizza kukola mulimu guno, ne mu biseera by’obulwadde obwa lumiimamawuggwe, ng’ensi yonna eri ku muggalo, ffe twasigala tukola, naye emitendera egy’enjawulo egiyitwamu okuzimba amasiro tubadde tetuyinza kugibuuka nti kubanga twagala kumaliriza” Owek. Mayiga.
Owoomumbuga bw’atyo ategezeezza nti byonna ebikoleddwa mu masiro, bikoleddwa wakati mu kulungamizibwa Ssaabasajja Kabaka, era amweyanzizza olw’okwenyigira obutereevu mu nsonga eno.Kamalabyonna asabye abantu ba Buganda okukwatiza awamu ekifaananyi ky’amasiro kyoleekebwe eri ensi mu ngeri eweesa ekitiibwa.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, abuulidde Obuganda nti omulimu gw’okuzzaawo ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga esangibwa mu masiro e Kasubi, nga bwe guwedde mu butongole, omulimu omunene ogusigadde kwe kusala ekisasi, era asuubiza okubuulira Obuganda, ssi kino lwe kinaakolebwa.









