Musasi Waffe
Katikkiro akubagizza omwami Francis Buwule n’ab’enju yabwe olw’okuviibwako maama waabwe omuto Muky. Robina Nakachwa Kirumira e Kanyanya. Buwule mukwano gwa Katikkiro okumala ebbanga ddene era babairi bano balina kampuni ya bannamateeka emayinddwa nga Mayiga Buwule & Company Advocates.
Bwabadde mumaka g’omugenzi e Kayanya, Katikkiro asabye Bannayuganda okubeera n’abantu ababayamba mu bulamu bwabwe obwa bulijo omuli; Omusawo, munnamateeka, omubalirizi w’ebitabo, ne yinsuwa.
Mayiga era yasabye abasika okukomya okutunda ebintu bya bagenzi nga bamaze okubisikira. Yagambye nti Bannayuganda bateekeddwa okuyiga okukuuma ebyafaayo bya enju zaabwe nga bwekiri mu mawanga amalala.