
Bya Musasi waffe
Akola ku by’empuliziganya mu ttabi ly’ekitongole ky’amawanga amagatte ekikola ku kulwanyisa akawuka ka mukenenya, Natalie Rigards, akyaddeko ku Bulange okwongera okunyweza enkolagana wakati w’obwakabaka ne UNAIDS, mu kulwanyisa siriimu.
Bwabadde amusisinkanye, Katikkiro Charles Peter Mayiga, yeebazizza aba UNAIDS olwokuwa Ssaabasajja obuvunaanyizibwa buno. Yagaseeko nti Beene asoosowazza nnyo ensonga z’eby’obulamu nga kino kyeyolekera mu kukola dduyiro, okugema abaana, akukubiriza abantu okubeera abayonjo wamu n’okujjanjaba abalwadde ba Nalubiri ne Fistula nga ayita mu misinde gyamazaalibwa ge egya buli mwaka.
Katikkiro agambye nti abasajja balina obuvunaanyizibwa bunene nnyo mu kulwanyisa n’okumalawo mukenenya kubanga bebatuukirira abakyala nebabagamba obugambo obuvaamu ebikolwa ebisaasaanya mukenenya.
Yasabye abasajja bakitwale nti buvunaanyizibwa bwabwe okukuuma obulamu bwabaagalwa baabwe bannakazadde b’eggwanga. “Omusajja bwanaafaayo okulwanyisa mukenenya nga Kabaka atukulembeddemu, mukenenya tujja ku mumalawo”, Katikkiro bwategeezezza. Wano wasinzidde nakuutira obuganda okuwulira Ssaabasajja byabalagira omuli; okwewala mukenenya, okwekebeza, okwekuuma, omulwadde genda ofune eddagala, abo abalina siriimu okubeera abasaale okulaba nti tebakasaasaanya okusobola okukuuma ebiseera by’eggwanga eby’omumaaso. Okulwanyisa mukenenya gwe ggwabadde omulamwa gw’omupiira gw’amasaza nga Bulemeezi ettunka ne Busiro e Namboole.