
Mu kaweefube w’okutumbula eby’obulambuzi mu Buganda, ekitongole ki Buganda Heritage and Tourism Board-BHTB kitegeka empaka z’okuvuganya kwa bannalulungi ba Buganda okuva mu buli ssaza nga kuno kubaayo buli mwaka okuyambako okutumbula obuwangwa, ebyobulambuzi wamu n’okusitula ekifaananyi ky’omwana omuwala ayongere okwekkiririzaamu era nemu 2024 bwegutyo bwegwali.
Empaka zagenda okugwa nga Nnalulungi omuggya ye Bisoboka Ruth Michelle oluvannyuma lw’okuwangula banne bwebaali bavuganya. Olugendo luno alugabanyeko n’omusasi wa Gambuuze, Pauline Nanyonjo mu Nezikookolima.
Gambuuze : Omulungi bakuzaala wa?
Nnalulungi Bisoboka : Nzaalibwa omwami Mukisa Kisuule Tonny amanyiddwa nga Vj MK Kisuule ayogerera firimu ku ttivi n’omukyala omumbejja Luwedde Christine ab’e Nazigo Bugerere nga ndi mwana waakuna era omuwala asooka.
Gambuuze: Oli mulungi lwendo, ggwe obulungi bw’oliko tebukutiisa?
Nnalulungi Bisoboka: Bangi bankungiriza naye ate nze ssi bwembiraba kubanga nkuze ndi wa bulijjo nga abaana abalala
Gambuuze: Abalungi temutera kunyweza bitabo, ggwe wabikomya wa?
Nnalulungi Bisoboka : Nze embaawo nnalaba eziwera, Pulayimale nagimalira ku Kisuule Primary School e Bukoto mu 2010 ate olwo siniya ey’okuna okutuuka ku y’omukaaga yasomera ku St Mathias Kalemba e Bugerere mu 2014 ne 2016. Neeyongerayo nenfuna Ddigiri okuva ku Kyambogo University era nakola kkoosi ya ‘Food Processing Technology’ era neentikirwa mu 2022.
Nange nafuna okusumbuyibwa okwenjawulo ng’ omwana ow’obuwala naye mu byona nekwasa nnyo Katonda wamu n’embala y’okwagala okusoma eyali entereddwamu bakadde bange.

Gambuuze : Lwaki wasoma byakugatta mutindo ku mmere (Food Processing)?
Nnalulungi Bisoboka : Okuva mu buto nayagala nnyo okubeera omusawo naye bwenakula nakizuula nti nina ensisi era mu kikula kyange ntya nnyo okulaba omusaayi n’ebiwundu era kino kyekyasindikiriza okugenda mu ‘Food Processing.’
Gambuuze : Tukitwale nti oyagala nnyo okufumba era ky’okola mu biseera byo eby’eddembe?
Nnalulungi Bisoboka : Nedda mwattu… Nnyumirwa nnyo okulaba obutambi bwe njiri, okusoma obutabo obw’enjawulo kwossa n’okulaba ebyo ebyolesebwa mu misono oba abambazi ab’enjawulo(Fashion).
Gambuuze : Ekirowoozo ky’ okwesimbawo mu mpaka z’ obwa nnalulungi okifuna otya?
Bisoboka : Naye okimanyi saalina kirowoozo kwesimbawo mu mpaka ezo era saamanya nako nti baali bayise abaagala okuvuganya. Maama yeyambagulizaako nansaba neewandiise era nvuganye nga mpita mu ssaza lye Bugerere era nange kyenakola wadde nasooka kutya wabula nasaba nenfuna obuvumu.
Olugendo lw’ okuvuganya lwali lutya?
Nnalulungi Bisoboka : Bwenasunsulwa okuvuganya mu mpaka za Nnalulungi 2024 maama wange Luwedde yamperekerako okuntuusa wetwasulanga ‘Boot Camp’ era essaala nalina emu ku mutima yakuwangula mpaka zino era nga njagala obuwanguzi bubeere bwa ssaza lyange Bugerere. Mukutendekebwa twayigirizibwa ebintu bingi era bangattako kingi era bwetyo neensobola n’okukola emikwano emipya.
Gambuuze : Kiki ekyasinga okusomooza mu mpaka zino?
Bisoboka : Nnafuna nnyo embeera y’okukabirirwa (Emotional Stress) kubanga ebiseera ebisinga nabeeranga mukwelaliikirira kubanga mukutendekebwa batuyisanga mu bujogoli obw’enjawulo ate nga byonna olina okubikwata ate n’obikola bulungi kyokka nga tewali budde bwakwogerako ne maama wange ekintu kyenali namanyirwa okukola buli lunaku.
Gambuuze : Ssente zewakozesa mu mpaka waziggya wa?
Nnalulungi Bisoboka : Bakadde bange bambererawo nnyo, emikwano gyanyambako ate ne Bannabugerere baakola buli kisoboka.
Gambuuze : Nsobi ki zewakola wakati mu mpaka z’otandiyagaliza bavuganya balala kutomera?
Bisoboka : Omuwala avuganya mu mpaka zino agezeeko okwewala okukabirirwa (Stress). Togendayo namutima gwa kuwangula naye kitwale ng’omukisa okubaako ky’oyiga, okunyumirwamu wamu n’okusanyukamu kubanga buli azibeeramu avaamu muwanguzi era nga alina kyagasse ku bulamu bwe nebwabatatutte ngule yonna.
Gambuuze : Kya njawulo ki ekyakuwanguza empaka ezo?
Nnalulungi Bisoboja : Ono yali Katonda era kino yakikola atandikira Bugerere gye nasookera mu mpaka zino era y’empagi kweneesigama okuwangula empaka za 2024.
Gambuuze : Olina eky’ enjawulo ekikwegaseeko mu kaseera ng’oli Nnalulungi?
Bisoboka : Bingi ebyenjawulo ebizze gyendi naye ebisinga obukulu kwekufuna eddoboozi n’ekyanya okwogera ku nsonga eziruma omwana omuwala wamu n’okutumbula nga neenyigira butereevu mu nsonga z’ebyobulambuzi n’okutaasa obutonde.
Ntanda ki gy’osibirira a omwana Omuwala ow’omulembe Omutebi
Bisoboka : Omwana omuwala ku mulembe guno olina okwekkiririzaamu nomanya nti buli kimu kisoboka singa omalirira. Balina okumanya nti okubeera omukazi kintu kya muwendo nnyo nga singa oli akyagala ate nakikwata bulungi okikufunamu ebirungi kyangu ddala. Tebalina kukkiriza kutwalibwa mulembe guno ogwa Tekinologiya n’omutimbagano era beewale okukola ekiyinza okutattana ekitiibwa kyabwe.
