• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Mutwale nga Musa wa Bayibuli agenda okutuusa bannayuganda mu nsi ensubize – Nobert Mao ku ddiiru gyeyakoze ne Museveni

Gambuuze by Gambuuze
July 26, 2022
in Amawulire
0 0
0
Mutwale nga Musa wa Bayibuli agenda okutuusa bannayuganda mu nsi ensubize – Nobert Mao ku ddiiru gyeyakoze ne Museveni
0
SHARES
43
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala – Kyaddondo

Ssenkaggale w’ekibiina ki  Democratic Party (DP), Nobert Mao ategeezezza  bannayuganda nti ensi ensubize eri kumpi era ye Musa ayogerwako mu Bayibuli agenda okubatuusaayo nasaba bamunywerereko ayambeko okukyuusa obuyinza mu ddembe.

Bino Mao abyogeredde  mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku City House mu Kampala okwogera ku ndagaano gyeyakoze ne Pulezidenti Museveni okukolaganira awamu mwebamulondedde okubeera Minisita wa Ssemateeka n’ekitongole ekiramuzi.

“Uganda eri mukwetegekera kukyuusa buyinza kino tukitandiseeko.  Ffe nga DP tuyambako kwanguya ku nsonga eno. Ekibuuzo oba naasobola okubeera Pulezidenti ekyo sikyenfaako. Mukkirize mbeere Musa anabatwala mu nsi ensuubize wadde nze sijja kutuukayo,” Ssenkaggale Mao bw’agambye.

Okusinziira ku Mao, agenda kusigala ku ludda oluvuganya asobole okutwala bannayuganda mu nsi ensubize era ogwo gwemulimu gwange. Mao agamba nti kyafa sikubeera Pulezidenti wa Uganda naye ajja kufiirawo okulaba nti Uganda eva mu busibe bwemazeemu emyaka 40 nga tagenda kwonoona kadde konna.

Mao agamba nti mu byaliko kwekulaba nti obuyinza bukyuuka mu mirembe era DP erina omukisa okuddamu okuwandiika ebyafaayo ng’ekibiina ekyayamba Uganda okukyuusa obuyinza mu mirembe era eno yemu ku nsonga lwaki yagattiddwa ku gavumenti.

Ono annyonnyodde nti nga Opozisoni bamaze obudde bungi nga basaba obuyinza bukyuuke naye buli lwebabadde bagezaako nga tewali kyamaanyi kivaayo nalowooza nti ekiseera kituuse okukyuusa ku bukodyo.

Mao akizeemu nti DP ekyaliwo era terina gyelaga era nakakasa nti ajja kusigala nga ye Pulezidenti wa DP naye nga ku luno bakweyambisa ne gavumenti okutuukiriza ebigendererwa by’ekibiina.

Ono abotodde ebyama ng’ endagaano eno eyateereddwako omukono ne Pulezidenti Museveni bw’amaze omwaka mulamba nokusoba nga ekitegeeza akakiiko akakiiko akatambuza ekibiina nga kano kekakola omulimu ku lw’olukiiko olufuzi olw’ekibiina olwa ‘NEC.’

“ Nali mwesimbu  era nabagamba nti njogerezeganya ne Pulezidenti Museveni. Ndi musanyufu n’ekibiina ekitambuza ekibiina kuba okutuuka leero tewali kyama kyonna kyasomolwa, ” Mao bw’alambuludde.

Bino webijjidde nga Pulezidenti Mao alindiridde oluyazibwa olunaku lw’enkya mu maka g’Obwapulezidenti Entebbe nga tanatandika mirimu nga Minisita wa Ssemateeka n’ekitongole ekiramuzi.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
Tags: Democratic PartyDPJustice MinisterNobert MaoPresident Museveni
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.