
Bya Ronald Mukasa
Kirumba – Masaka
Abantu ab’enjawulo beeyiye ku Ssettendekero wa Muteesa I Royal University okwetaba ku mukolo gw’okukwasa abagikulira ‘Charter’ egikakasa okukola emirimu mu kisaawe ky’ebyenjigiriza mu butongole.
Omukolo guno guyindidde ku kitebe kya Ssettendekero e Kirumba Masaka mu Buddu ku Lwokusatu era wano Kamala byonna Charles Peter Mayiga waasinzidde neyeebaza bonna abayambyeko okuwangula olutalo luno.
” Twebaza Ssaabasajja Ronald Mutebi II olw’okukuuma omumuli gwa Jjajja we Muteesa I nga gwaka naddala mu byenjigiriza. Nneebaza ba Katikkiro abankulembera naddala Oweek. Joseph Mulwanyamuli Ssemogerere, kubanga ku mulembe gwe, ekirowoozo ky’okutandikawo Ssetendekero eno kwe kyatandikira, era nneebaza buli muntu alina ky’akoze okutuusa Muteesa I Royal University ku kkula lino,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Mukuumaddamula annyonnyodde nti ekigendererwa ekisooka ekya Ssettendekero ono kwekukwasizaako gavumenti mu lugendo lw’okutuusa ebyenjigiriza ku babyetaaga.
Katikkiro Mayiga yeebazizza Katikkiro eyawummula Mulwanyamuli Ssemwogerere kubanga ekirowoozo kino kyatandikira ku mulembe gwe.

Owek. Mayiga era mu ngeri eyenjawulo atenderezza baminisita neba Cansala ba Ssettendekero ono abasooka olw’okusima omusingi ogugiyambye okuyitimuka netuuka ku kkula lino.
Akunze abazadde okwongera okuwaayo abaana kuba olwa ‘Charter’ eno kati abayizi balina emikisa egy’enjawulo omuli n’abayizi nga basomera ku looni za gavumenti.
Owek. Mayiga yeebazizza aba National Council for Higher Education ne Minisitule y’ebyenjigiriza mu Gavumenti ya wakati olwa ‘Charter’ eno, nategeeza nti ssettendekero kintu kikulu nnyo kubanga obuwanguzi bwayo buli mu mutindo gw’ebisomesebwa.
Akiikiridde aba National Council for Higher Education Dr Vincent Aloysius Ssembatya agamba nti omwaka guno Ssettendekero ssatu zezifunye ‘Charter’ bwatyo nayoozayoza Muteesa 1 olw’ekkula lino.Amyuka Cansala wa Muteesa I Royal University
Ye amyuka Cansala wa Ssettendekero ono Prof Vincent Kakembo yeebazizza abo bonna ababayambyeko okulaba nga ssettendekero ono afuna Charter.

Minisita w’Obwakabaka ow’ebyenjigiriza, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko yeeyamye okwongera okulondoola ebiyigirizibwa ku Muteesa okusobola okukakasa nti ebyo byebaweereddwa olukusa okusomesa bibeera eby’omutindo ddala.
Ssentebe w’Olukiiko olukulembera Muteesa I, Dr. Gorret Nakabugo yeebazizza Kamalabyonna Charles Peter Mayiga kuba olugendo luno lututte ebbanga eriwera nga tewali bibala birabwako naye olw’okulemerako kwa Mukuumaddamula baasobodde okumalako.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu mu biti ebyenjawulo omuli bannabyanjigriza, abaliko abayizi n’abayizi kussetendekero ono.