Bya Francis Ndugwa
Kyaggwe
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abaami ba Kabaka bulijjo obutakulembeza bitiibwa naye bafube okukolera abantu, olwo ebitiibwa bisobole okubasangayo wakati nga baweereza abantu ba Kabaka mu mpeereza ey’omulembe.
Bino Kamalabyonna abyogeredde mu nteekateeka y’Emmwanyi Terimba e Kyaggwe bw’abadde ku mbuga y’eggombolola ya Ssaabaddu Ntenjeru- Nanfumbambi ku Lwokubiri.
“Obwami si bitiibwa, obwami si ttutumu n’akatono, obwami buweereza. Omuntu ayagala okwagalibwa n’okusuusuutibwa alina kusooka kukola nteekateeka ezigasa abantu. Bw’okola enteekateeka ezigasa abantu, ekitiibwa kyekola kyokka.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza
Ono yeebazizza bannakyaggwe olw’okuyooyoota obulungi embuga zaabwe era n’abasaba okukola ennyo ng’abantu ssekinnoomu n’amaka amalungi agateekeddwateekeddwa obulungi nga gasobola okweyimirizaawo, okusobola okuzza Buganda ku ntikko.
Kamalabyonna Mayiga agamba nti tekikola makulu; Bulange ne Masengere okwakayakana ng’abantu ba Buganda batubidde mu bwavu era eyo si ye Buganda gye banoonya okuzza ku ntikko.
Katikkiro Mayiga asabye abavubuka okwettanira enteekateeka y’Emmwanyi Terimba kuba bakyalina akadde okutuukiriza bye baagala era bakimanye nti ekitiibwa kya Buganda ekiyimbibwa kirina kuva mu kukola naddala kino eky’omulembe Omutebi .
Ye Omulangira David Kintu Wasajja asiimye abaami bonna abakoze ekisoboka okutambuza enteekateeka eno n’okuzza ekirime ky’Emmwanyi kuba singa si maanyi gaabwe, ensonga eno teyandinyikidde mu bantu.
“Ssaabasajja ayagala abantu be nga balamu era nga balina ke beekoledde nga balina ebitambuza obulamu bwabwe. Nazikkuno Buganda yazimbibwa abantu balamu ate nga bakozi era eno y’emu ku nteekateeka ezo.” Omulangira Wasajja bw’annyonnyodde.
Omwami w’essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Elijah Bogere ategeezezza nti Kyaggwe y’emu ku masaza agaateekeddwamu emmeresezo era bakakasa nti ekirime kino kigenda kuddamu okutinta mu kitundu kino.
Mu kulambula kuno, Katikkiro Mayiga awerekeddwako; Omulangira David Kintu Wasajja, Minisita w’Amawulire, Kabineeti, Olukiiko era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Noah Kiyimba, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Minisita w’ebyettaka, obulimi n’obutonde bw’ensi, Owek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, Minisita omubeezi ow’obulimi n’Obwegassi, Owek. Hajji Amisi Kakomo n’Abakungu ab’enjawulo.