Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde amasomero okulindako emyezi esatu, olwo baggulewo abayizi basobole okudda ku masomero.
Kino kiddiridde ssenkulu w’ekitongole ekirondoola ebyensoma ebyawaggulu ekya ‘National Council for Higher Education (NCHE),’ Prof. Mary J.N Okwakol okutegeeza nga bwe baasabiddwa amatendekero aga waggulu okuggulawo.
Okwakol yannyonnyodde nti okuggulawo amasomero kijja kusinziira ku kusalawo kwa minisitule y’ebyobulamu, akakiiko akalwanyisa COVID-19 wamu ne minisitule y’ebyenjigiriza era nga bano bonna batuula bufoofofo okusala empenda ku nsonga eno.
Ono eggulo yafulumizza ekiwandiiko n’agamba nti, “Pulezidenti awabudde nti amatendekero aga waggulu gasigale nga gasomera ku mutimbagano okumala emyezi esatu.”
Akakiiko kakiggumizza nti tewali ssomero lirina kuggulawo okutuusa nga gavumenti evuddeyo n’erangirira ekyenkomeredde ku nsonga eno.
Bino we bijjidde ng’amasomero agamu gabadde gaamaze dda okufulumya enteekateeka ez’olusoma olusooka mu mwaka.