Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yeetondedde aba famire wamu n’eggwanga lyonna olw’okufa kwa Munnabyamizannyo Zebra Isaac Ssenyange abadde amanyiddwa nga ‘Mando’.
Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga yagambye, nti Zebra yattiddwa ab’ebyokwerinda ku Lwokusatu ekiro.
“Nasazeewo nneenyigire mu kunoonyereza kuno nsobole okuzuula amazima era kye ntegedde kiri nti Zebra yattiddwa babyakwerinda.” Museveni bwe yagambye.
“Mutusonyiwe ku nsonga eno, Musonyiwe. Nja kutegeeza aba famire ye ebinaaba bizuuliddwa ng’okunoonyereza kwonna kuwedde.”Museveni bwe yeetonze.
Ssenyange abadde mutuuze w’e Bwaise III mu St. Francis Zooni wano mu Kampala.
Okusinziira ku Museveni Ssenyange abadde muwagizi wa kibiina kya NRM eyalowoozeddwa nti abadde atendeka abantu abagenda okutabangula Kampala.
“Bwenawulidde nti Isaac Ssenyange ‘Mando’ attiddwa nakubidde mukyala we n’anyinnyonnyola ebintu nga bwe byabadde.” Museveni bw’agambye.
Museveni yagambye nti Zebra yabadde alina okumusisinkana kuba abadde muwagizi waabwe era ng’abakoledde bingi.
Okusinziira ku Museveni, mukyala wa Ssenyange yamugambye nti abajaasi baayingidde ennyumba yaabwe nga Zebra ayiseemu.
Ono yannyonnyodde nti Zebra yalinnye ekikomera n’agwa mu kibinja kya bajaasi ekirala ne bamukuba amasasi emirundi ebiri.
Ssenyange yaliko kaputeeni wa ttiimu y’ebikonde eya Bombers nga ye yagikulembera okugenda mu mpaka za All Africa Games ezaali e Maputo mu Mozambique mu 2011.