Bya Ssemakula John
Kampala
Omuduumizi w’amagye ow’oku ntikko, Gen. Yoweri Kaguta Museveni, azzeemu okulonda Gen. Muhoozi Kainerugaba era mutabani we okuduumira eggye erimukuuma erimanyiddwa nga “Special Forces Command.”
Muhoozi ow’emyaka 46 eyaliko omuduumizi w’eggye lino aweereddwa obuvunaanyizibwa okukuuma omukulembeze w’eggwanga.
Kinajjukirwa nti mu mwezi gwa 2017, Muhoozi yaggyibwa ku buduumizi bwa SFC n’abalondebwa okubeera omuwabuzi wa Pulezidenti ku bikwekweto ebyenjawulo nga kino kye kifo Muhoozi ky’abaddemu okutuusa olwaleero.
Gen. Muhoozi azze mu bigere bya Maj. Gen. James Birungi abadde aduumira eggye lino. Bino bikakasiddwa omwogezi w’eggye lya UPDF, Brig. Flavia Byekwaso ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter.
Mu nkyukyuka endala ezikoleddwa, Brig. Paul Lokech alondeddwa okudda mu bigere by’abadde amyuka Ssaabaduumizi wa poliisi Gen. Sabiiti Muzeyi azziddwayo ku kitebe ky’amagye okulinda obuvunaanyizibwa obunaamuweebwa.
Ate abadde omuduumizi wa SFC, Birungi asikidde Gen. Lokech eyasindikibwa mu ggwanga lya South Sudan okulaba ng’emirembe giddayo.
Ssaabaduumizi wa poliisi, Martin Okoth Ochola asigaddeyo ku buduumizi bwa poliisi y’eggwanga.
“Njozaayoza eggye lya UPDF olw’okuwangula abali b’enkwe abaali bayambibwako abagwira,” Obubaka bwa Museveni bwe yaweerezza mu bubaka eri abajaasi bwe bw’asomye ku Lwokusatu.
Ono yagasseeko nti omupoliisi yenna atasobola kukola ekyo alina okwabulira ekitongole, waliwo enkumi ezirinze okudda ku bifo byabwe.