
Musasi waffe
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olwaleero asunsuddwa okukwatira ekibiinaakye ekya National Resistance Movement bbendera mu kalulu ka 2021.
Okusunsulwamu kuno kukoleddwa ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda aka NRM akakulemberwa Dr Tanga Odoi.
Museveni era asunsuddwa ku kifo kya ssentebe w’ekibiina kya NRM.
Ku bifo byombi Museveni teri amuvuganya.
Okusinziira ku Tanga Odoi, Museveni atuukirizza obukkwakkulizo bwonna obwateekebwawo akakiiko akafuzi ak’okuntikko aka Central Executive Committee [CEC].
Tanga yagambye nti tabalina gwebalemesezza yenna kwewandiisa.
Eyaliko omubaka w’e Makindye ey’obuvanjuba, John Ssimbwa yagezaako okwewandiisa wabula yagamba nti yalemesebwa bweyagaanibwa okuweebwa amateeka aganaagobererwa mu kalulu.
Museveni yasiimye nnyo Tanga Odoi n’akakiiko ke olw’omulimu omulungi gwebakoze.
Ssabbiiti ejja olukiiko lwa NRM lwakutuula nga bayita ku mitimbagano okulondako abakulembeze abatuula ku lukiiko lwa CEC era bano bebasuubirwa okukakasa Museveni okuba nti yeesimbyewo nga tavuganyiziddwa.








