
Bya Ssemakula John
Kampala
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga ez’enjawulo era eyaliko minisita wa guno na guli, Hajji Abdul Naduli, asabye Pulezidenti Yoweri Museveni okusooka okwebuuza lwaki ekibbattaka n’ekisengula bantu bikyase nnyo ku mulembe gwe okusinga bwe gwali nga tannakwata buyinza.
Bino Nadduli yabyogeredde mu mboozi ey’akafubo gye yabaddemu n’omukutu guno.
“We mbuuliza nti ekyamutwala mu nsiko, ffenna atukung’aanye tugendeyo twagendayo ku lwa bibanja? Obulemeezi bwe yalwaniramu, Obuganda bwe yalwaniramu teyabusangamu baamu. Ababasengulamu bazze ku mulembe gw’ani? Si gugwe?” Nadduli bwe yagambye.
Hajji Nadduli yannyonnyodde nti bw’otunuulira amannya g’abantu abasengula abantu ku ttaka bava mu kitundu kimu ate nga balina akakwate n’abanene mu gavumenti naye yeewuunya Pulezidenti Museveni okwekwasa ettaka lya mayiro.
Nadduli agamba nti Museveni ne banne beekwese bwekwesi mu ky’okutaasa ab’ebibanja abali ku ttaka naye ekigendererwa kyabwe ekikulu kya kunafuya Bwakabaka bwa Buganda n’abakulembeze baabwo nga bayita mu kuggyako Abaganda ettaka lyabwe.
Ono era agamba nti ensonga z’ettaka lya Buganda tezirina kutwalibwa mu Palamenti kuba ettaka lya mayiro teriri mu bitundu byonna wabula ensonga eno erina kuteesebwako gavumenti ne Buganda.
“Bonna ababaka tekuli alina bya bugagga byange, ggwe wava mu Ankole ojje ogabane ebyewaffe, n’oli n’ava e Bugisu agabane Ebyaffe. Buli omu byasigalayo era ensobi gye bagenda okugwamu ne Gavana Andrew Cohen gye yagwamu.” Nadduli bwe yagasseeko.
Ono ategeezzeza nti ebigenda mu maaso bimuleetera amaziga ku mutima n’okulowooza nti Buganda tesiimiddwa olw’ebyo bye yawaayo mu kununula eggwanga.
“Museveni yalinnya ensozi zaffe, emisambwa gyabwo ne gimukkiriza oba agyeyambulidde misana ng’abba ettaka lya bazzukulu b’emisambwa egyamuwa obuyinza, katugikowoole gikomewo gimweyambule.” Nadduli bwe yaweze.
Nadduli agamba nti kyabadde kigenderere okulonda Judith Nabakooba ne Sam Mayanja ku bwaminisita, abakozese okuwera ettaka lya mayiro wabula n’abalabula okukimanya nti Buganda ne Katonda omwoyo gumu.
Bino webijjidde nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yaakamala okulabula ku bantu abeesomye okutwala ettaka lya mayiro awamu n’abo abagezaako okutwala omutima gwa Buganda ogusembeza abalala nga obunafu.









