Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eggulo ly’aleero asisinkanyeemu Omukama w’e Tooro Oyo Nyimba Kamba Iguru mu maka g’obwapulezidenti Entebbe, n’ebateesa ku nsonga ez’enjawulo.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa amaka g’omukulembeze w’eggwanga, Museveni asisinkanye Oyo ng’ali wamu ne maama we Best Kemigisha.
Ekiwandiiko kitegeezezza nti ezimu ku nsonga ezaateeseddwako kwabaddeko olukungaana lw’abakulembeze b’ennono okuvva mu nsi yonna olubadde lugenda okubaawo mu mwezi gw’omwenda okuva nga 7 okutuuka nga 11.
Wabula olw’ekirwadde kya coronavirus, olukungaana luno terugenda kusobola kubaawo olwa gavumenti okuziyiza abantu okukungaana.