
Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze omuko Odrek Rwabwogo awamu n’ababadde baminisita babiri nabagatta ku ttiimu y’abawabuzi be ku nsonga ez’enjawulo.
Zino zeezimu ku nkyukakyuka ezalangiriddwa ku Lwokuna ezigambibwa nti zigendereddwamu okwongera okunyikiza empeereza mu bantu.
Bwatyo Museveni nga akozesa obuyinza obumuweebwa Ssemateeka mu nnyingo eya 99 (i) ne 177 yalangiridde abadde minisita omubeezi ow’abavubuka n’ensonga z’abaana Nakiwala Kiying,i okumuwabula ku nsonga z’ekikula ky’abantu n’abavubuka.
Nakiwala abadde yakegatta ku NRM okuva mu kibiina kya DP era yali yavuganya ku kifo ky’ omubaka omukyala owa disitulikiti ye Bukomansimbi wabula omuyaga gw’ekibiina kya NUP ogwayita gwamuleka awanguddwa munnakibiina kya NUP Veronica Nanyondo.
Mu ngeri yeemu Mary Karooro Okurut abadde Minisita atalina mulimu gwa nkalakalirira alondeddwa okubeera omuwabuzi ku kifananyi kya gavumenti.
Ate omuko w’ embuga Odrek Rwabwogo nalondebwa okuwabula Pulezidenti Museveni ku nsonga ez’enkizo.
Era abadde omuwandiisi wa kabineeti era akulira abakozi ba gavumenti, Dr. John Mitala alondeddwa okuwabula Pulezidenti ku bakozi ba gavumenti ate Dr. Adonia naddzibwayo mu kibiina ky’amawanga amagatte nga omukiise era ambasada wa Uganda.
Okusinziira ku bakugu, okulondebwa kw’ abamu ku bannabyabufuzi mu bifo ebyenjawulo kibadde kikubagizo oluvannyuma lw’okulemererwa okuwangula akalulu kyokka nga n’ebifo byebalimu mu kabineeti nabyo babivuddemu.









