Bya Ssemakula John
Kampala
AKALULU ka 2021 katabuse, enjuyi ez’enjawulo buli lumu lusula luyiiya engeri ey’okuwangulamu akalulu kano. Leero alina kkaadi y’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), Yoweri Kaguta Museveni, atongozza ‘App’ etuumiddwa ‘Mzee NALO’ egenda okumwanguyiza okuwangula akalulu kano.

Enkola eno ya tekinologiya era nga ‘App’ eno egenda okuyamba okulaga ebintu ebyenjawulo, obuwanguzi wamu n’enkulaakulana ereeteddwa Pulezidenti Museveni mu bbanga lye ly’amazeeko era n’okulaga by’asuubira okukola singa bannansi banaaba bamulonze.
Okusinziira ku bakulu mu kibiina kino ‘App’ eno egenda kulaga olugendo lw’ekibiina kya NRM awamu n’enkulaakulana gye kisobodde okutuusa ku Bannayuganda.
Enkola eno eya tekinologiya okusinga egenda kutambulira ku ssimu ez’omulembe era ng’egenda kubeerako amawulire agakwata ku by’okwerinda, ebyobulamu, ebyenjigiriza, ebyenfuna, ebyobulimi, enkulaakulana y’ebibuga, ebyatekinologiya, ebyobulambuzi awamu n’ebirala.
‘App’ eno ezimbiddwa mu nnimi ez’enjawulo ennansi okusobola okutuusa obubaka wansi ku muntu asembayo wansi.
Abakoze ‘App’ eno bannyonnyodde nga bwe kuteekeddwako tekinologiya ow’omulembe asobozesa Pulezidenti Museveni okugweyungako n’ayogereganya n’abantu butereevu ku ssaawa eyo nga bamulaba era n’amanya ebirowoozo byabwe.
Bwe yabadde atongoza enkola eno, Pulezidenti Museveni yatenderezza obuyiiya bw’abavubuka era n’ategeeza nti gavumenti ye yaakubakwasizaako ng’eyitira mu Minisitule ya tekinologiya kibayambe okwongera okuvumbula eby’omugaso.
Buli kulonda lwe kutuuka Pulezidenti Museveni ajja n’akakodyo akamuyamba okwetunda mu bavubuka ng’emirundi egiyise abadde ayiiya obuyimba obuwerako wabula ku luno yeekutte ku tekinologiya n’essimu za ‘Smart Phone’ okusikiriza abavubuka.








