
Bya Musasi waffe
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alabudde ababaka ba palamenti obutakemebwa kukozesa ssente obukadde 20 obwabaweereddwa.
Ng’ayogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero ku biragirobye eby’okuziyiza okusaasaana kwa kawuka ka coronavirus, yagambye ababaka okwewa obuwumbi 10 kyagezaako okujja abantu ku mulamwa.
Yagambye yasisinkana sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga namulagira essente zino ababaka okuziwa obukiiko bwa ddisitulikti obukola ku coronavirus.
Yagambye abo abanaagulamu emmere balina okunnyonnyola Ssaababaliriza wa gavuemnti.
“Temukkirizibwa kugulira gavumenti kintu kyonna kubanga waliwo abaaweebwa obuvunanyizibwa buno,” Museveni bweyagambye.
Ebyo ng’obuzizza ebbali, Museveni era yalabudde bannabyabufuzi bonna okukomya okweyingiza mu by’okugaba emmere.
“Y’ensonga lwaki Zaake twamukwata; okwata otya Zaake ate abalala n’obaleka omuli aba NRM ne ba minisita,” Museveni bweyagambye.
Francis Zaake ye mubaka akiikiririra ekibuga kya Mityana mu palamenti.