
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akkirizza akeedi 110 okuddamu okukola oluvannyuma lw’okutuukiriza ebisaanyizo ebyateekebwawo aba minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa ekirwadde kya coronavirus.
Bano babadde ku muggalo okumala emyezi ena.
Bwababadde ayogerako eri eggwanga akawungeezi kaleelo, Museveni agambye nti Kampala erina abizimbe 230 nga ku bino, ebizimbe 170 byakeberebwa kyokka 110 byokka byebyasangibwa nga bisaanidde okuddamu okukola.
Museveni yagambye ebimu ku birina okugobererwa kwekulaba nga buli kizimbe kirina obuuma obukebera ebbugumu, ebifo wanaabirwa engalo, okuggya abantu bonna bakolera mu nkuubo, okuwandiika buli muntu yenna ayingira mukizimbe.
Mu balala abaguddwa kuliko aba saluuni naye nga nabo balina okugoberera ebiragiro bya ministule nga ebya abakeedi byebalina okugoberera.
Ate aba boda boda pulezidenti nabo akkirizza baddemu bakole okutandika wiiki ejja nga July 27.
Bano kigenda kuba kyabuwaze okwambala akakookolo ssaako ne bikoofiira bikatamu giyite helmet.
Abasaabaza nabo balina okwambala masiki. Owa boda boda era alina okuwandiika buli muntu alinnya pikipikiye.
Mu birala omukulembeze w’eggwanga era akendeezezza ku ssaawa za kafiyu nga kati agenda ku tandika nga saawa ssatu ez’ekiro nakoma saawa kkumi neemu n’ekitundu ez’olweggulo.
Kyokka bo aba boda boda baakukomanga ssaawa 12 okukola.
KIno Museveni agamba akikoze olw’okusobola okukendeeza obumenyi bwamateeka.
“Okutuusa nga mwetereezezza nemwejjamu abakozi b’ebikolobero, mujja kukoma saawa 12,” Museveni bweygamabye.
Ebyo nga bikyalyawo, Museveni awolerezza minisita w’ebyobulamu Jane Ruth Aceng nti teyakigenderera kukuba lukungaana e Lira.
Museveni agambye nti yali asabye Aceng obuteesimbawo mu byabufuzi wabula oluvannyuma lwa coronavirus okujja mu Uganda, yafuuka wa ttutumu ewaabwe e Lira abantu nebamusaba okwesimbawo.
Bweyagendayo nabamukungaanirako.
“Nkakasa nti si yeyayita abantu abo naye kino kibe kyakulabirako nti singa tosobola kuziyiza bantu kukungaanirako tukoba lukungaana okutuusa nga coronavirus aweddeyo,” Museveni bweyagambye.








