
Bya URN
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni aganye okusaba kwa Ssaabaminisita wa Yisirayiri Benjamin Netanyahu okuggula ekitebe kya Uganda mu kibuga Jerusalem kyebakayanira n’aba Palasuuti.
Bwabadde akyaddeko mu Uganda ku bugenyi bw’olunaku olumu, Netanyahu asabye Museveni okukulemberamu amawanga ga Afirika amalala nga aggulawo ekitebe kya Uganda e Jerusalem.
“Ssebo omukulembeze w’eggwanga era mukwano gwange nkusaba olowooze ku kyokuggulawo ekitebe kya Uganda mu Jerusalem,” Netanyahu bwe yagambye.
Wabula mu kwanukula, Museveni agambye ensonga ya Jerusalem ekyaliko kkaluma nywera nga era yeetaaga okwongera okugyetegereza.
Omukulembeze wa America Donald Trump omwaka oguwedde yakakasa nti Jerusalem kye kibuga kya Israel ekikulu era bwatyo n’alagira ekitebe kya America kizzibwe eyo.
Wabula kino aba Palasuti bakiwakanya nga bagamba nti nabo ekibuga kyabwe.
Mu birala Museveni bye yayogeddeko ne Netanyahu mwabaddemu Uganda okutandika okubera n’ennyonyi egenda obutereevu mu Yisirayiri.