Maj. Gen. Gregory Mugisha Muntu ayiseemu okukwatira bendera ekibiinaakye ekya Alliance for National Transformation [ANT] ku ntebe y’obwapulezidenti mu kalulu akajja nga tavuganyiziddwa.
Ono yasunsuddwa okukwatira ANT ebendera olwaleero ku kitebe ky’ekibiina ekisangibwa ku Buganda Road mu Kampala.
Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kino, Dan Mugarura yeeyakuliddemu enteekateeka y’okusunsulamu kuno.
Ng’ayogerako ne Uganda Radio Network, Mugarura agambye nti ababadde baagala okwesimba ku Muntu baabivuddemu mu lwokaano oluvannyuma lw’okukizuula nti Muntu yaasinga.
Muntu yasabiddwa ebintu ebyenjawulo okusobola okwesimbawo muno mulimu; abamusemba 20, obukadde busatu ob’okwewandiisa, ebbaluwa eziraga abagenda okumukuumira akalulu, endagiriro ya woofisiye, kkopi y’endagamuntu wamu n’ebbaluwa okuva ewa ssentebe w’ekyalo gyasula.
Bwamaze okukakasibwa, Muntu agambye nti agenda kukozesa akakisa kano okulaba ng’azimba emisingi eggwanga kwerinaatambulira ye nebwaba nga avuddewo.
Ku lulwe. Mugarura yategeezezza nti kati ekiddako kwekugenda okusisinkana akakiiko k’eby’okulonda okwebuuza butya omuntu wabwe bwagenda okonoonya akalulu nga yeetooloola eggwanga lyonna.
Ono yategeezezza nti kisoboka okukuba n’enkungaana z’abantua abatono nga bagoberera ebiragiro by’abasawo ku nkungaana.
Akakiiko k’ebyokulonda kaawera kampeyini okusobola okutaangira okusaasaana kw’ekirwadde kya Coronavirus.
URN