
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’Ebyobulimi, Obulunzi, Obuvubi n’Obwegassi Owek Hajji Amis Kakomo Mukasa asabye abazadde n’abasomesa okunnyikiza ennono n’obuwangwa mu baana kibayambe okufuna ebiseera by’omu maaso ebirungi.
Obubaka buno, Owek. Kakomo abuwadde atikkula Oluwalo lwa bukadde 20 okuva mu bayizi okuva mu Ggombolola ya Nsangi Ssaabagabo mu Busiro kulwa Katikkiro Charles Peter Mayiga e Bulange Mmengo mu Lwokubiri.
Owek. Kakomo yeebaziiza nnyo batandisi n’abakulu b’amasomero okuva mu ggombolola ye Nsangi Ssaabagabo olw’okuleeta abayizi bakiike Embuga okusobola okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe eri Nnamulondo.
Minisita Kakomo ategeezezza nti okukiika Embuga yemu ku ngeri eziyamba okutambuza emirimu gy’Obwakabaka n’okutuusa obuweereza eri abantu ba Beene mu bitundu by’obwakabaka ebyenjawulo.
Bano abasabye okufumintiriza ku bubaka Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II kibayambe okunyweza ennono mu baana bano kiyambe okutaasa Buganda ku bannakigwanyizi abeesomye okunafuya Nnamulondo.
Owek. Kakomo abakuutidde okukuza obulungi abaana babwe mu mpisa n’obuntubulamu basobole okugasa Obuganda n’eggwanga lyonna.

Ye Omumyuka wa Ssebwana Dr Steven Seruyange yeebaziiza katonda okukuuma Ssaabasajja, bwatyo n’awera nti abesomye okunafuya Nnamulondo tebakyalina kyebazaako okuviira dala Beene lweyadda ku butakka.
Akulira Omwami w’Eggombolola ya Ssaabagabo Nsangi, Wasswa Mathias ategeezezza Kamalabyonna nga abantu b’eggombolola eno bwebali abawulize ennyo eri Nnamulondo nga kino kyeyolekedde ne mungeri gyebakiise embuga olwaleero n’okujjumbira enteekateeka za Buganda.
Bw’abadde ayogera kulwa banne, amyuka omukulu w’essomero lya Trinity College Nnabingo Akuwa Clemensia yeebazizza nnyo Maasomoogi olw’okulonda abakulembeze abalungi abakoze omulimu ogw’ettendo ogwokubunyisa obuwereza bw’obwakabaka mu masomero.
Akuwa era akubiriza amasomero gonna mu bwakabaka bulijjo okwenyigira butereevu muntambuza y’emirimu embuga nga bawagira enteekateeka zonna ez’obwakabaka.
Omukolo guno gwetabiddwako abaana b’amasomero agenjawulo n’abasomesa baabwe saako abazadde okuva ku Trinity College Nnabingo, Hams SS, Kinaawa High school, Rays of Hope P/s, Buddo P/S, St Aloysius SS, Mother Care Preparatory School n’amalala mangi.