Musasi waffe
Kkooti enkulu mu Kampala ekkirizza okweyimirirwa kwa munnamagye eyagannyuka Lt. Gen. Henry Tumukunde okuva mu kawome e Luzira gyabadde okuva nga Marhc 12.
Tumukunde ayimbuddwa ku kakalu ka bukadde 50 obutali bwabuliwo.
Abamweyimiridde kubadde mukyalawe, Stella Tumukunde, mukkoddomiwe, Hanninngton Karuhanga wamu n’eyali minisita Matthew Rukikaire.
Omulamuzi Wilson Kwesiga abadde mu mitambo gy’omusango guno ara alagidde Tumukunde okuddangayo mukkooti olunaku lumu mu mwezi okuzza obujja okweyimirirwakwe.
Ono era alagiddwa okuwaayo paasipoota ye eri omuwandiisi wa kkooti.
Tumukunde yakwatibwa ku biteeberezebwa nti yasangibwa n’emmundu mu bumenyi bw’amateeka wamu n’okulya munsi olukwe.
Kino kyaddirira okulabikira ku lutimbe lwa NBS n’asaba eggwanga lya Rwanda okuyambako Uganda okujja Museveni mu ntebe y’obwapulezidenti.
Omulundi ogw’asooka, omulamuzi Kwesiga yagaana okukkiriza Tumukunde okweyimirirwa kubanga yali taleese basirikale bali kuddalalye oba abamusinga okumweyimirira.
Kyokka kino kyavumirirwa abantu ab’enjawulo nga mulimu ne bannamateeka abaagamba nti omuntu eyawummula amagye tayinza kusabibwa bannamagye okumweyirmirira.