Bya Ronald Mukasa
Bulange, Mengo
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubaka bwe bw’atisse Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, akunze abantu ba Ssaabasajja okutwala mu maaso kaweefube wa mmwanyi terimba okusobola okwongera okulinya obwavu ku nfeete.
Obubaka buno Oweek Mugumbule abuwadde abantu ba Ssaabasajja okuva mu Ssaza ly’e Mawogola ne Ssingo abakiise embuga era baleese oluwalo lwa bukadde bw’ensimbi 457700500/=.Oweek. Mugumbule abeebazizza olw’okujja Embuga mu ngeri eweesa ekitiibwa kyokka n’abakuutira okwerinda ekirwadde ky’amaaso ekibalusewo ensangi zino, obulwadde bwa Mukenenya saako n’omusujja gw’ensiri okusobola okubeera abalamu kubanga Ssaabasajja ayagala abantu be nga balamu bulungi.
Abeebazizza olw’okussa ekitiibwa mu nsonga ssemasonga ettaano okusingira ddala ey’obumu, era abategeezeza nti Oluwalo si lwa buwaze kyokka kiyambira ddala okulaga nti obukulembeze ku buli mutendera bulondoolwa n’okukola obulungi emirimu gy’Embuga.
Omwami wa Ssaabasajja mu Ssaza Mawogola omuggya Oweek. Kankaka John, yeebazizza nnyo Ssaabasajja olw’okusiima n’amuwa obuvunanyizibwa obw’okumulamulirako essaza, yeyamye okuweereza obulungi Kabaka n’abantu be.
Omubaka wa Mawogola North Shartshi Musherure Kuteesa, yeebaziza nnyo Ssaabasajja olw’obukulembeze obulungi, ng’agamba nti Beene si mukulembeze wa Baganda bokka wabula ow’abantu bonna abawangaalira mu Buganda.
Mu bakiise Embuga mwe muli Abaami ab’Eggombolola ez’enjawulo, Bannabyafuzi, Bannadiini, Bannabyabusubuuzi n’abantu ba Kabaka okuva e Mawogola ne Ssingo.