Bya Ssemakula John
Ssingo
Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza ssaza lya Singo, Mukwenda David Nantajja akubirizza abavubuka okwenyigira mu bulimi naddala mukulima emmwanyi basobole okuvvunuka obwavu n’okwekulaakulanya.
Obubaka buno Mukwenda abuweredde Bukoba mu ggombolola ye Ssekanyonyo e Ssingo ku mukolo kweyatongolezza ekyuma kyemmwanyi mu Ssingo ekyabawereddwa ab’ekitongole ki KOICA.
Mukwenda yasinzidde ku mukolo guno nagugumbula bannabyabufuzi abalimbalimba abavubuka nga babawa kyeyayise obusente mebabajja kumulamwa mukifo ky’okubatusaako obuweereza obubakulaakulanya. Mu ngeri yeemu yacoomedde bannabyabufuzi abawa abantu baabwe ensimbi okubagulirira mu kifo ky’okubasakira ebintu ebibagasa n’okubalambika ku kituufu kyebalina okukola.
Ssentebe w’ekitongole kya Mmwanyi Terimba Omuk. Kironde Charles yasuubizza abalimi b’emmwaanyi abegattira mu kibiina kya Akutwala Ekiro Farmers’ Co-operative Society nti agenda kukwatagana nabakulu mu kibiina kyabwe okubafunira akatale.
Ono akubirizza abalimi be Mmwaanyi nti bweba baakufuna mu kirime kino, balina okugula endokwa z’emmwanyi mu mmeesezo ezaatongozebwa Uganda Coffee Development Authority.
Ye Omukungu Mulindwa Wamala atwala obulimi n’obweggasi akubirizza abalimi okulima omutindo gw’emmwanyi zaabwe n’okwettanira obwegassi okusobola okulaakulana.
Ssentebe w’ekibiina kya Akutwala Ekiro Farmers Co- operative Society Sserunyiigo Muhammad yeebazizza BUCADEF olw’okusomesa abalimi mu mu muluka gwabwe.