Bya Gerald Mulindwa
Lugazi
Minisita w’eby’obuwangwa Ennono n’Obulambuzi Owek. David Kyewalabye Male asabye abantu okukuuma ebifo by’ennono n’obuwangwa kubanga bikulu nnyo.
Oweek. Kyewalabye bino abyogedde alambula ebiyiriro bya Ssezibwa e bisangibwa e Lugazi ng’ omu ku kaweefube w’okutumbula eby’obulambuzi n’okukuuma ebifo eby’enkizo mu bwakabaka.
“Ebiyiriro bya Ssezibwa biriko ensonga enkulu nnyingi mu buwangwa, era y’ensonga lwaki Ssekabaka Daudi Chwa, Muteesa ne Kabaka Ronald Muwenda Mutebi baasimbako emiti okwongera okubikuuma n’okulaga obukulu bwabyo mu Buganda,” Oweek. Kyewalabye bweyagambye.
Ye ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk. Edward Kaggwa Ndagala eyawerekedde ku Minisita Kyewalabye yalaze okutya olw’abantu abajja basenga okwetoloola ebiyiriro bino mu ngeri y’ejjoogo wabula nasuubizza okwogeraganya nabo balabe bwebabinunulwa.
Mu kulambula kuno, minisita awerekeddwako Ssenkulu wa Buganda Heritage And Tourism Board Carol Nnaalinnya n’abaweereza mu kitongole kino .