Bya Shafik Miiro
Kampala – Kyaddondo
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abazadde okubeera n’ennono okutambulizibwa omukululo gw’amaka era bakuze abaana nga babalaga bwebasobola okutambulira mu buufu obwo.
Obubaka buno Owek. Nsibirwa abuweeredde ku Africana mu Kampala bw’abadde yeetabye ku nsisinkano ya bannabyanjigiriza Abakukunavu mu wansi w’omulamwa ogugamba nti, ‘Omukululo gw’Amaka.
Owek. Waggwa agamba nti omukululo ky’ekintu eky’okyobuwangaazi ekiganyula abantu ng’omusingi gw’emirembe egy’enjawulo, era ekyo ekisalibwawo okukolebwa mu maka, kiteekwa okuba nga kigasa emirembe gyonna eginaddawo.
Ono awadde eky’okulabirako ky’eyali Jjajjaawe Owek. Martin Luther Nsibirwa, omusajja atafuna kusoma kwa mu kibiina kuli awo naye n’afaayo okusomesa abaana be bonna omuli n’abawala, ekyali ekizibu mu biseera ebyo ate n’abalambika mw’ebyo bye yali akkiririzaamu.
Ategeezeza nti okuva ku ye, ab’enju banywezezza omukululo gw’Ebyenjigiriza era abaana n’abazukkulu bakitwala nga kya nkizo nnyo okusoma ate eby’ensonga, nga muno muvuddemu n’abatandiseewo amasomero.
Owek. Waggwa era annyonnyola nti mu kukuliza abaana ku nnono y’amaka, era balina n’okuweebwa omukisa okuyiga ku bintu eby’enjawulo nga batwalibwa mu bitundu gye basobola okufuna amagezi amalala n’okukyusa endaba y’ebintu, ng’olwo bwe bagatta obuyiiya obw’engeri eno n’ennono y’amaka basobola okuzimba ebintu eby’enkulaakulana eby’enjawulo.
Wano waasabidde abazadde bulijjo okufisangayo obudde eri abaana baabwe babalambike mw’ebyo bye bakikirizaamu era babalage eky’okukola batuuke ku mutendera ogusobola okukuuma eby’obugagga mu maka n’okwekulaakulanyiza awamu.
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko yeebazizza omukolo guno ogugatta bannabyanjigiriza gw’agambye nti guteekawo omukisa ogw’okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okutwalamu eby’enjigiriza mu maaso mu Ggwanga.
Owek. Nakate agasseeko nti okuyita mu nsisinkano ng’eno bannabyanjigiriza bagabana ebirowoozo ku ngeri y’okuddukanyamu amasomero era asabye abasomesa bulijjo okweteekateekanga obulungi nga bagenda mu lusoma lwonna okusobola okubangula obulungi abaana b’Eggwanga.
Ensisinkano eno yetabiddwamu bannabyanjigiriza ab’enjawulo omuli; abatandisi b’amasomero, abakulira amasomero, n’abaweerezaako mu bifo eby’enjawulo mu kisaawe ky’ebyenjigiriza nga bano beegatira ku kye bayita ‘Great Educators Forum’