Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti obuwangaazi bw’ontu yenna munsi buba bwamugaso singa abukozesa okukola ebigasa abantu. Okwogera bino Mayiga abadde ku lutikko e Namirembe ng’abenju y’omutaka Erimiya Ssebuliba bajaguza olwa kitaabwe oyo okuweza emyaka 100 egy’obukulu.
“Ffena twegomba obulamu obuwanvu era okuwangaala bulyomu kuffe kyayagala. Naye Katonda bwakuwa obulamu ga buwanvu abeera akuwoze ebbanja. Munsi tuteekwa okubaako eby’omugaso byetukola so si kubala myaka. Bwetujja munsi netufuna amaka, omulimu ogusooka kwekugunjula abaana babeera abatuuze abalibala ebibala,” Mayiga bweyagambye.
Yayongeddeko nti ennaku zino abantu bakuza nnyo amazaalibwa kyokka ng’abagakuza tabalina kyebalaga. “Oluusi tuziika abantu netugamba nti amaze emirimu gye neneebuuza akoze giriwa [oba] mbu ‘omwanaawo yeebase,’ yeebakire ddala talina mirimu gyeyakola,” Mayiga bweyagambye. Yasiimye nnyo Ssebuliba olw’okuyigiriza abaanabe ebikwata ku kika kyabwe n’agamba nti bano beebajja okusobola okuzza Buganda ku ntikko gyeyali.
“Neewunya bwennakyala mu makaage e Nankulabye mu nkola ey’ettoffaali, yalina emyaka 94 era amaaso gaali gaaziba nali nawuliranga erinnya eryo Kitagobwa naye nga nze omuntu simumanyi. Bakungaanyizaawo obukadde munaana nebabumpa mu mpeke kale bweweetegereza obulamu bw’omukulu ono olaba omuntu atajja munsi kubalabubazi myaka wabula okugizimba agireka nga nnungi okusinga bweyagisanga,” Mayiga bweyagambye.
Kululwe, Omutaka Namwama, akulia ekika kye Kkobe
Augustine Kizito Mutumba, yatenderezza nnyo Ssebuliba olw’emirimu gyakoledde ekika kye.
“Nze namutuuma mutima gwa Namwama kubanga yalumirirwa nnyo ekika ky’ekkobe era yakikolera nnyo era y’omu kubabadde abakulu nga yetterekero ly’amagezi, etterekero ly’okujjukira biki ebyali byadobonkana mu kika, bwatyo n’atuwa amagezi era n’atuwa ne ku ssente ne tusobola okuba nga tumaliriza ensonga ezo,”Mutumba bweyagambye.