Bya Saava Kevins Kanyike
Kyengera – Busiro
Libadde ssanyu mu maka g’omwami Painato Yiga Nalukoola nga ono yalamulirako Ssaabasajja essaza lye ery’e Buddu, nga kati yawummula, ku mukolo muwala we Namatovu Juliet kw’ayanjulidde omwagalwa we Nviiri Samuel mu maka ge mu ggombolola ya Ssaabagabo Nsangi Kyengera mu Busiro.
Ssaabawolereza w’Obwakabaka akubirizza buli alina ky’akola naddala obuweereza babutambulize mu mukwano nga olwo lwe banaasobola okuggusa emirimu mu nkola ennungamu.

Oweek. Bwanika akubirizza abaagalana okuli Samuel ne Juliet okwagala Kabaka waabwe nga lwe banaasobola okumuweereza nga taata waabwe bw’azze akola nga beekumiramu omwoyo gwa Buganda ogutafa basobole okuddira bakadde baabwe mu bigere.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Augustine Kizito Mutumba annyonyodde abazadde abetabye ku mukolo guno okunyiikira okukuza abaana babwe mu ngeri esaanidde basobole okubaweesa ekitiibwa nga batuuka ku kkula ery’obufumbo.
“Abazadde baffe tubebaaza kuba okutuula wano ky’ekitiibwa kye tuggya mu kwola abaana, mu kukuza abaana kuba abantu bangi abaagala okutuuza abagenyi nga mmwe mu mpya zaabwe naye Mw. Paineto agoberedde ennambika ya Ssaabasajja ey’okukuza abaana ab’omulembe Omutebi ate ne bavamu ensonga ennungi n’olwekyo eri abazadde ffenna tunyiikire okukuza abaana baffe basobole okutuuka mu kitiibwa nga kino kuba kisobokera ddala” Omutaka Namwama.
Omutaka Namwama asabye abantu abakola emikolo egy’obuwangwa obutava ku nnono kubanga gigoberera ekitiibwa ky’abazadde n’abataka ababa bayitiddwa ku mukolo kale kisaanidde okukuuma ekitiibwa ne watabaawo awebuulwa.
Omukulu w’Ekika ky’e Ngabi Omutaka Nsamba Aloysious asabye abagole okukulembeza omukwano bambuse ekika ky’e Ngabi waggulu. Ono mu ngeri y’emu asiimye abasengese entambuza y’omukolo ogwo ne batawebuula nnono za Buganda nga bakozesa ebigambo wamu n’amazina agateesittaza.
Omwami w’essaza Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriza anyonnyodde nti omulenzi yenna akkiriza omuwala okumwanjula eri bakadde be, aba ayoleseza akabonero ak’obugunjufu mu banne kale ono asabye abasajja bonna abatuuse mu myaka gy’okuwasa okusalawo okwanjulwa era kwossa n’okukola embaga ez’ekitiibwa.

Omukolo guno gwetabiddwako abaweereza abenjawulo mu Bwakabaka okuli Ssaabawolereza, bajjajja Abataka abakulu Ab’obusolya, Abaami b’amasaza ag’enjawulo, bassenkulu b’ebitongole ebitali bimu, omulabirizi wa West Buganda eyawummula, bannabyabufuzi n’abantu abalala.









