
Bya Francis Ndugwa
Bulange Mmengo
Owek. Kaawaase asabye bannabyabufuzi okumanya nti n’ebirowoozo by’abantu abalala bwe biri ebikulu era n’alabula abali ku ludda oluwabula gavumenti, okukimanya nti si buli ekiva mu gavumenti nti kibeera kikyamu. Wabula bateekewo enkola ey’okuwuliziganya kuba kye kisobola okutwala eggwanga mu maaso.
Okusaba kuno Owek. Kaawaase akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga okuva mu bakkansala ba Kampala Capital City Council Authority, nga bakulembeddwa Sipiika Zahara Luyirika n’abakulembeze okuva e Mawogola okubadde n’ababaka ba Palamenti.
“Munnabyabufuzi omutuufu nga tannawakanya nsonga na kugiteekamu byabufuzi, asooka kunoonya mazima ku nsonga ez’enjawulo. Ensonga bw’ebeera ya byabulamu ng’okugema bantu ate nga gwe obumanyirivu olina bulala, sooka owulirize abakugu b’ebyobulamu, bagamba ki? Sooka ogyetegereze buli ky’oyogera osimbe bwino.” Omumyuka asooka owa Katikkiro Kaawaase bw’agambye.

Ono akubirizza abaami ba Kabaka okukozesa emikisa gye balina gye bali kuba omukisa gujja lumu, basobole okusakira Obwakabaka era mu byonna bye bakola beewale ebyo ebikosa ensonga Ssemasonga, Obwakabaka bwa Buganda kwe butambulira.
Omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Twaha Kaawaase Kigongo agamba nti amateeka galina okuweebwa ekyanya okukola era bwe gaba gagamba nti omuntu alina okutwalibwa mu kkooti mu ssaawa 48, kye kiba kikolebwa era ekisaanidde kwe kusooka okunoonya obujulizi ng’abantu tebannakwatibwa.
“Tugatta eddoboozi lyaffe ku kugamba nti amateeka gakole kye galina okukola awatali kunyigiriza bantu.” Owek. Kaawaase bw’agambye.
Abasabye okusooka okwekenneenya Pulaani Nnamutayiika y’ekibuga Kampala okusobola okubalambika, beewale okusaba ebyo ebitali mu nteekateeka eno era n’okulowooza nti ensimbi ezibaweebwa ntono nnyo, olwo basobole okutwala emirimu mu maaso.
ku nsonga eziri e Mawogola, Owek. Kaawaase agambye nti RDC amusuubizza okukola ku nsonga z’ettaka mu kitundu kino, okulaba ng’abantu ba Kabaka abali mu kitundu kino baganyulwa mu nteekateeka ez’enjawulo omuli eya Bonnabagaggawale.
Owek. Kaawaase asabye abaami ba Kabaka okukwatagana n’abakulembeze mu gavumenti eyaawakati, basobole okusakira abantu baabwe ate beewale n’okuweebuuka mu mpisa kuba kivumaganya Obwakabaka.
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Owek. Joseph Kawuki asiimye abakulembeze okuva mu KCCA ne Mawogola olw’okumanya nti Buganda bwe buddo bwabwe era ne yeebaza bannamawogola olw’okulwanirira ettaka lya Buganda erya Mijwala.
Omwami wa Kabaka akulembera essaza Mawogola, Muteesa Hajji Muhammad Sserwadda, asiimye bannamawogola naddala ababaka, abakulembeze awamu ne RDC olw’okuggyayo amaanyi gonna okutereeza ensonga z’ettaka lya Buganda mu kitundu kino.
Ate ye kkansala wa Lubaga North II, Kizza Hakim Sawula ye ategeezezza nti tewali mukulembeze ayinza kukulembera bantu nga tomanyi Buganda kye ki, kuba ettaka KCCA ly’ekozesa lya Buganda nga n’abantu abasinga obungi mu Kampala bali ku ttaka lya Kabaka.
Kizza agambye nti baagala okulaba engeri gye bagatta omutindo ku nnyanja eno era basobole okugiggyamu obucaafu era n’abagyetooloddeko bakomye okugisuulamu kasasiro nga bw’eneetereera basobola okugifuula ekyobulambuzi.










