
Bya Francis Ndugwa
Namayumba – Busiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu bonna mu ggwanga naddala abazadde okukyuusa endowooza y’abaana b’eggwanga bakome okukyaawa eby’obulimi nga balowooza nti kuba kubonaabona nakweyitira bwavu.
Entanda eno Katikkiro Mayiga agiweeredde Ssaza Busiro ku Lwokusatu bw’abadde bw’abadde alambula abantu ba Kabaka mu Gombolola ye Namayumba ku kyalo Bukuku mu maka ga Mw. Nelson Kalyango omulimi w’emmwanyi ne gonja.
“Obulimi busobola okugaggawaza omuntu naye kisinziira ggwe bwolimamu. Mukomye okuwa abaana endowooza nti obulimi bwabugubi, mubayigirize, bayige bamanye nti obulimi busobola okukyuusa obulamu bwabwe era bamanye nti okulima kulimu omugaso, ” Kamalabyonna Mayiga bw’agambye.
Mukuumaddamula Mayiga yeebazizza Kalyango olw’obuteesaasira wadde abalala bamuyita mulema naye neyewaayo okukola nga abalala bali mu mwenge kuba obulema tebubeera ku mubiri wabula mu mutwe.
Ono annyonnyodde nti abantu ba byekwaso bebalina okuyitibwa abalema nasaba abantu bulijjo okukomya okwekwasa naye balwane okutandika n’ekitono kyebalina.

Ye Minisita ow’ Amawulire era omwogezi wa Buganda, Owek. Noah Kiyimba ategeezezza nti Buganda tekyalwana ntalo zakugaziya bitundu wabula okulwanyisa obwavu n’okutumbula embeera z’abantu nasaba abantu bonna okusitukiramu.
Bannabusiro Minisita Kiyimba abasabye omukisa gw’okubeera okumpi n’ekibuga kuba akatale weekali.
Ye omulimu w’emmwaanyi ne gonja, Nelson Kalyango Kaseenene, annyonnyodde Katikkiro Mayiga nti ekirooto kyalina si kutunda mmwaanyi bweru wabula baagala kuzimba ekifo basobole okunywa kkaawa nga bamugasseeko omutindo.

Kalyango akubirizza abazadde okuwa abaana babwe abaliko obulemu omukisa kuba basobola bulungi okubeera ab’omugaso okusinga ate bebayita abalamu.
Ono asabye abantu okunyikira okukola era balime ebitooke omuli ndiizi, gonja, bogoya n’ebirala okusobola okugoba obwavu.









