Bya Ssemakula John
Kampala
Omusango oguvunaanibwa omubaka wa Kawempe South mu Palamenti, Muhammad Ssegiriinya ogw’okukuma omuliro mu bantu eggwanga bwelyali ligenda mukulonda kwa 2021 gwongezeddwayo okutuuka nga February 10, 2023.
Ono leero ku Lwokuna aleeteddwa mu maaso g’omulamuzi wa Buganda Road, Sienna Owomugisha nga asuubira omusango gwe okuwulirwa wakati mu by’okwerinda.
Kkooti bwetandise, omu ku bakugu bapoliisi anoonyereza ku misango gy’oku mutimbagano ategeerekeseeko erya Billy nasituka okusobola okusoyezebwa ebibuuzo wabula bannamateeka ba Ssegiriinya nga bakuliddwa Geoffrey Turyamusiima nebagaana obujulizi bwe.
Bano bategeezezza nti Billy alemeddwa okukakasa kkooti nti obubaka bweyawandiika buliko omuntu yenna gwebwakosa oba okusikiriza akole obutabanguko.
Era wano, Turyamusiima ategeezezza omulamuzi nga oludda oluwaabi bwelusigazza abajulizi basatu wabula ekyewuunyisa bonna bapoliisi.
Oludda oluwaabi lulumiriza nti wakati w’omwezi gwa August ne September wa 2020, Ssegiriinya yasinziira mu Kampala nawanika ku kibanja kye ekya Facebook ku “Ssegirinya Muhammad Fans Page ” obubaka obukuma mu bantu omuliro nga ayagala beekalakaase.
Obubaka buno okusinziira ku ludda oluwaabi bwali bugamba nti,”Ndabula abo bonna abaagala okugezaako okutemula Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu nti ekijja okubeera wano kijja kukubisaamu ekittabantu ekyali e Rwanda mu 1994 emirundi 40.”
Omubaka Ssegiriinya kati wakudda mu kkooti omwezi ogujja okwongera okuwulira omusango guno ogumuvunaanibwa.