Bya Ssemakula John
Kampala
Mufti wa Uganda, Shiekh Ramadhan Mubajje, avumiridde enneeyisa ya bannayuganda mu kkampeyini n’ategeeza nti eno etteeka obusiraamu mu matigga kubanga buyigiriza bulijjo okubeera n’empisa ennungi.

Bino Mubajje abyogeredde mu kulambula disitulikiti ezikola ekitundu kya Wakiso eky’obusiraamu bw’abadde ayogerako eri abasiraamu ku ssomero lya One Umma School- Kaliiti mu ggombolola y’e Mmende.
Mubajje ategeezezza nti abavubuka bangi bavudde ku njigiriza y’obuyisiraamu wakati ng’eggwanga lisemberera okulonda kwa 2021.
“Empisa ky’ekintu ekiwedde mu basiraamu, obusiraamu busigaddewo nga bulagira empisa ennungi naye ate abasiraamu, ba Imam ne bamashiekh empisa si zeezo ennungi. Kati tugenda mu kiseera kya kulonda naye ate ojja kusanga omuvubuka omusiraamu n’atali ng’omusiraamu y’asinga okwolesa empisa enkyamu.” Mubajje bw’agambye.
Ono asabye abakulembeze b’eddiini mu kitundu kino okufaayo n’okubuulirira abavubuka, kiyambe okutaasa ku mpisa ezongera okugootaana buli lukya.
Mubajje yasiimye ekibiina ky’abazungu ekya One Umma olw’okufaayo okukyusa obulamu bw’abasiraamu mu Uganda n’ategeeza nti kino kyongera okulaga nti eddiini y’Obusiraamu si ya bawarabu bokka ng’abasinga bwe balowooza.
Disitulikiti Kadhi wa Wakiso, Sheikh Elias Kigozi, yennyamidde olw’abantu abaagala okunyaga ettaka ly’obusiraamu n’okulikozesa ku mpaka nga tebafunye lukkusa okuva mu bakulu abalivunaanyizibwako.
Ekitundu kino eky’obusiraamu ekya Wakiso, kikolebwa; Nansana, Nabweru, Kitaasa-Gombe, Kakiri, Masuuliita, Nsangi, Kira ne Kasangati era nga kiri wansi w’obukulembeze bwa Kampala mukadde.








