Bya Ssemakula John
Kibuye
Kkampuni y’essimu eya MTN ekwataganye ne BBS Terefayina okulaga abasuubuzi naddala abali mu butale obw’enjawulo bye bakoze okuwanirira ebyenfuna by’eggwanga.
Kaweefube ono yatandise dda okulagibwa ku BBS Terefayina era nga yatongozeddwa olunaku lw’eggulo mu katale ka Kabaka e Kibuye mu kanyomero akatuumiddwa ‘Ebifa mu katale ne MTN’ era nga kajja kulagibwa emirundi esatu buli wiiki.
Okusinziira ku akulira bakitunzi ku BBS Terefayina, Alice Namatovu, bagenderedde okulaga ettoffaali eddene abasuubuzi naddala mu butale lye batadde ku kuzimba eggwanga.
Pulogulaamu eno era egenda kulondoola abasuubuzi embeera mwe bakolera awamu n’ebizibu ebibanyigiriza. Namatovu yategeezezza nti waliwo empaka ezigenda okwetabwamu obutale obwenjawulo, embeera y’ekirwadde kya COVID-19 bw’enaaba eteredde.
Enteekateeka eno yakutwaliramu obutale 20 naye okusooka etandika n’obutale butaano okuli; Kibuye, Katwe, Nakawa, Usafi ne Wandegeya.
Akulira bakitunzi mu MTN, Somdev Sen yagambye nti obutale bulaga engeri Bannayuganda gye bakakalukanamu nga banoonya ssente era nga kisaanidde okumanya ebigenda mu maaso mu butale buno.
Somdev yannyonnyodde nti enkola y’okuweereza n’okufuna ssente ejjumbiddwa nnyo obutale era ng’eyamba abasuubuzi okumanya ssente ze bafulumizza nokuyingiza.
Ono yagasseeko nti okukolagana y’abasuubuzi ne MTN eyongera okukakasa nti MTN Momo gye balina okwesiga okutambuza emirimu gyabwe.
Enteeekateeka eno eya ‘Ebifa mu katale ne MTN’ egenda kulagibwanga buli lwa Mmande, Olwokubiri n’Olwokutaano ku ssaawa 8 ez’omu ttuntu.