Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Msgr. Fr. Dr. Ssemusu Lawrence atenderezza omutindo essomero lya Lubiri High kweliri era neyeebaza abakulira essomero lya Lubiri High School Mmengo olw’enkola enunngi ey’okusabira abayizi gyategeezezza eyongera okunywereza abayizi ku Katonda n’abalungamya.
Obubaka buno Msgr. Ssemusu abuweeredde mu kitambiro kya Mmisa eky’okusabira abayizi abagenda okutuula ebibuuzo ebya S4 ne S6 gye bujja ku ssomero lino ku Lwokusatu.
Ono era akuutidde abayizi okwolesa empisa n’ebikolwa ebibaawula ku balala bakwatire essomero ly’Obwakabaka bendera ey’ebikolwa ebirungi.
Dr. Ssemusu agambye nti mu lutabalo lw’okusoma abayizi bonna balina okuwaayo obudde obumala nebeefumiitiriza ku byebasoma okusobola okufuna obubonero obulungi mu bigezo byabwe ebyakamalirizo.
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Nakate Choltilda Kikomeko, yeebazizza nnyo buli omu alina kyakoze mu kusoma kw’abayizi bano era n’asaba abayizi ab’ekibiina eky’okuna okudda ku ssomero eryo mu kibiina eky’okutaano, naabo abagenda okutuula eky’omukaaga abasabye okugenda ku Muteesa 1 Royal University.
Owek. Kikomeko era asabye amasomero ga pulayimale agabaddewo omubadde Lubiri Nnabagereka Primary School, St. Andrew Kaggwa Primary School ne Kyaggwe Road Primary School okwegatta ku ssomero eryo nga batuuse mu siniya.
Bbo abayizi abeetabye mukitambiro kino baweze okukola n’amaanyi gaabwe gonna okuweesa essomero lino ekitiibwa.
Abayizi abagenda okutuula ebigezo by’omulundi guno beebo abatambulidde mu nsengeka y’ensoma empya (curriculum) era Omukulembeze w’essomero lino Muky. Nampijja Immaculate, agamba nti byonna ebyetaagisa omuyizi okuyira obulungi babikoze kisigadde gyebali okubissa ku mpapula.