Bya Ssemakula John
Kigo – Busiro
Akulira oludda oluvuganya, Mathias Mpuuga atabukidde ab’obuyinza naddala abatwala amakomera olw’okulemwa okuteeka mu nkola ekiragiro kya kkooti ekyabasaba okutwala omubaka Allan Ssewanyana okufuna obujjanjabi oluvannyuma lw’okulemwa okumulaba eggulo ku Lwokubiri.
Mpuuga agamba nti kyewuunyisa okulaba nga Kamisona w’amakomera akyalemeseza omubaka Ssewanyana okufuna obujjanjabi obusingako nga kkooti bweyali yalagira.
Kino kiddiridde ebigambo okuyitingana nga biraga ng’ embeera ya Ssewanyana bweyeyongera okubeera embi oluvannyuma lw’okumala emyezi 17 mu nkomyo era nga kigambibwa nti takyasobola kutambula nga tebamukwatiridde.
Bino byawaliriza Mpuuga awamu n’abamu ku babaka okugenda mukomera e Kigo naye nebategeezebwa nti Ssewanyana mulwadde nnyo naye ate ab’ebyokwerinda nebabagamba nti Ssewanyana kennyini yagaanye okulaba abagenyi.
Wabula omubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegiriinya ng’ono yakwatibwa wamu ne Ssewanyana yannyonnyodde nti Ssewanyana amaze wiiki satu nga tasobola kwetambuza wadde okulya ekyongedde okuteeka obulamu bwe mu matigga era kati abakulu b’amakomera bagaanye omuntu yenna okumulaba era kati yalaba abagenyi abalina okuba aba Ssewanyana.
Owek. Mpuuga agamba nti kyewuunyisa okulaba nti bagaanye maama wa Ssewanyana ne mukyala we okumulaba bamanye embeera entuufu mw’ali era wano Mpuuga yategeezezza bannamawulire nti bano balina kyebakweka nga beekwese mu Ssewanyana kuba nti tayagala bagenyi.
Kinajjukirwa nti omwezi oguwedde ogwa January kkooti enkulu e Masaka yakkiriza Ssewanyana aweebwe obujjanjabi obwenjawulo nga ekiragiro wekyafulumira nga Ssewanyana aweereddwa ekitanda mu ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital.
Ababiri bano baakwatibwa nga September 7, 2021 n’abalala 7 ku bigambibwa nti beenyigira mu ttemu ly’ebijambiya eryali mukitundu kya Masaka ne Lwengo. Bayimbulwa ku kakalu ka kkooti nga September 21 naye nebaddamu nebakwatibwa ku misango emipya egyali gibaguddwako.