
Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Kampuni y’Obwakabaka bwa Buganda evunaanyizibwa ku kirime ky’emmwaanyi eya Mmwaanyi Terimba Limited nga etandise okutunda emmwaanyi mu ggwanga lya Russia mu kaweefube w’okugaziya akatale kaazo.

Eggulo ku Mmande, Obwakabaka bwaweereza obungi bw’ emmwaanyi bwa ttani 21 nga zino zateereddwa ku nnyonyi nezitwalibwa mu ggwanga lya Russia.
Akulira Bakitunzi ba Mmwaanyi Terimba Ltd., Jonathan Batambuze yeyakakasizza bino nagattako nti basuubira okwongera okufuna abaguzi okuva mu mawanga ag’enjawulo olw’omutindo n’obuganzi bw’emmwaanyi ezirimibwa mu Buganda.

Mw. Batambuze yasinzidde wano naakubiriza abalimi b’emmwaanyi okufuba okulaba nti bafa ku mutindo gwazo naddala mu kaseera k’okuzinoga n’okuzaaanika okusobola okwongera okuzifunamu.
Mw. Batambuze yeebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okutandikawo enteekateeka y’ Emmwaanyi Terimba okusobola okuganyula abantu be abali mu kulima ekirime kino.

Mu ngeri yeemu yebazizza Katikkiro Owek. Charles Peter Mayiga ne Ssenkulu wa Mmyanyi Terimba Limited, Omuk. Charles Kironde olw’amaanyi gebatadde mu kutuukiriza ekiragiro kya Kabaka eky’okutumbula ekirime kino nga bakunga n’okwagazisa abantu okukirima.
Batambuze ategeezezza nti waliwo essuubi abantu okusobola okugoba obwavu nga beekutte ku kulima emmwaanyi.