Bya Ssemakula John
Kampala
Abakulu mu Minisitule y’Amasanyalaze n’Obugagga obw’omu ttaka balaze okutya ku bantu abeegumbulidde okusanyaawo ebyuma ebitambuza amasanyalaze mu bugenderevu nebafiiriza gavumenti ssente eziwerera ddala.
Okusinzira ku kiwandiiko ekiriko omukono gwa Minisita omubeezi owa minisitule eno, , Sidronius Okaasai Opolot omuze guno gweyongedde nnyo ensangi zino okusinga bwekibadde ekiraga nti bino bitegeke.
Minisita Sidronius Okaasai Opolot agamba nti gavumenti efulumya obuwumbi bwa silingi 2 buli mwaka okusobola okuzzaawo ebyuma bino bibeera byonooneddwa n’okubbibwa.
“Ekizibu kino kyeyongedde okusinga bwekyali era kikosezza nnyo Puloojekiti zaffe eziwedde awamu neezo ezibadde zikyakolebwako,” , Sidronius Okaasai Opolot bw’agambye.
Ku wiikendi ewedde layini 2 ezitambuza amasanyalaze agawera 132kv zasaliddwa okuva ku bbibiro lya Nalubaale awamu ne lya Kira ekyaleetedde amasanyalaze okuvaako mu kitundu kya Buganda ne Ankole.
Opolot agamba nti ebikolwa bino bitaataaganya embunyisa y’Amasanyalze era kigaleetera okuvavaako ekikosa bannamakolero awamu n’amalwaliro.
Ono asabye bannayuganda babayambeko okulwanyisa omuze guno kuba singa gugenda mu maaso ensimbi z’omuwi w’omusolo zezibeera zigenda okwonooneka era ne bannabizineensi abageetaaga bakukosebwa.